Enkoko ziwa ennyama, amagi, ennyingiza ne kalimbwe eri abalimi bamufuna mpola. Enkoko kyokka zikosebwa endwadde nnyinig. Omusujja bwebulwadde nnamuta obukyasinze eri ebinyonyi munsi yonna. Amangu ddala ng‘enkoko efunye akawuka tebaayo esobola okusiiga enkoko zonna mukyalo.
Obubonero
Singa akawuka kakosa obwongo bwenkoko ejja kulabika ngessanyaladde, erambadde, obulago n‘omutwe, nafu era nnyongobevu. Ziddukana kalimbwe owakiragala owoluzzi agenda akwatira kubyoya, okuzimba wansi mu biwawatiro era nga zifeesa. Omusujja guletebwa akawuka ka virus nekasasanyizibwa omuntu oba ekintu kyonna ekiyina akakwate nebivudde munkoko ya kalimbwe, eminyira egyenkoko endwadde oba emmere ekozeseddwa obulwadde, amazzi n‘engoye zabantu.
Okutangira n‘okuziyiza omusujja
Omusujja bulwadde obusobola okutangirwa n‘okukuma obuyonjo okugeza ng‘okwawula enkoko endwadde mu nnamu okusala n‘okuziika enkoko endwadde okutangira okusasaana kwendwadde. Yawula osseewo kalantini okuziyiza enkoko engenyi okwetabika mu nkoko zo.
Okugema
Eddagala erigema y‘enkola esingawo obulungi etangira obulwadde. Eddagala erigema lirina okunnyogozebwa wakati wa digiri 2-8. Bwoba ogenda okugema eddagala erigema lirina okutwalirwa mu kintu ekirimu bbalafu oba nga lizingiddwa mu kagoye akaweweevu munda my bbaketi singa ebbugumu teriba lyawaggulu.
Eddagala erigema erimanyiddwa nga lasota: ecupa emu eya lasota etabulwa ne liita 5 eza mazzi era lirina okuweebwa mu ssaawa 2 nga litabuddwa. Okusobola okukola obulungi, ejiiko emu eyamata g‘ensaano gagatibwa mu kyotabudde. Eccupa y‘eddagala erigema eyina kusumulurwa mumazzi okukakasa enkozessa etukiridde. Ebitabuddwa osobola okubiyiwa mu kkonteyina za mazzi n‘oteeka mu bifo eby‘enjawulo mu kiyumba oba n‘olikuba butereevu mukamwa nga weeyambisa empiso.
Eddagala erigema eriyitibwa 1-2 vaccine lyo liweebwa enkoko ngabassa ettondo limu mu liiso lyenkoko. Lino eddagala erigema teritabulwamu mazzi. Okusobola okukola obulungi lirina kuweebwa mu budde bwakumakya. Okusobola okwewala obuzibu obuyinza okuddirira eddagala erisigaddewo lirina okuzikibwa oba okwokyebwa.