Omusu kekasolo ak‘omuttale akagwa muttulube ly‘ebusolo ng‘e mmese (Rodent). Abafirika bangi bawoomerwa ennyama yaabwo.
Okulunda emisu mulimu oguleeta ensimbi kuba tegwetaaga kussamu nnyo. Ku lw‘obulunzi obulungi obwensolo zino, okuzirambula n‘obwegendereza n‘okuziwa emmere erimu ebirungo byonna kyetaagisa. Emmere yaayo okusinga muddo nga mugwo mulimu; mukonzikonzi, ebisagazi ogusobola okukungulwa okuva muttale oba okusimbibwa. Ebisansa, ebimera ebyempeke, ebikolo byebimera n‘ebinyeebwa.
Omuddo n‘ebibala
Emmere eyinza okwongerwaamu ebitundutundu byebibala ebitayengedde okugeza nga amapaapali nemiyembe. Ebibala ebyengedde biyina okwewalibwa kuba bigiletera (emisu) okuddukana nokuzimba olubuto. Ebikajjo, emirandira gy‘omuddo, muwogo n‘amayuuni gasalibwa mubutundu nago negagattibwaamu. Obwegendereza buyina okubaawo naddala kummere ya muwogo kuba o‘mu akaawa ate abeelamu obutwa.
Obuyumba (cages) buyina okuyonjebwa era emisu giweebwa omuddo ogumala nebikajjo biyina okuba bitonotono kuba bikonzibya enkula y‘omusu n‘amannyo gaayo.
Emmere entabule
Emmere entabulire ewaka ekolebwa nga otabula ebikoola bya kasooli, omubisi, woyilo, ccaccu w‘engano n‘omunnyu. Emmere eno egattibwaamu ebitundutundu byeminwe, ebibala ebitayengedde n‘amazzi kuba kyanguyira ensolo okulya. Emmere entabule eyamba emisu okuzaala abaana abalamu ela abagumu, gikula bulungi ela negisigala nga milamu. Okuwa emisu emmere eyobuwunga kigiretera okufuna obuzibu mukussa.
Okukungula/ okunoonya omuddo
Okukungula omuddo kukolebwa kawungeezi kubanga kalenge wokumakya ajja nendwadde awamu nebiwuka. Omuddo ogukunguddwa kusooka kuterekebwaako nga tegunnaweebwa misu, kino kiyamba okuziyiza obulwadde nga ekiddukano ekiyinza okuletebwa ebiwukka ebijjidde mu muddo.
Omuddo omukulu gulina ekirunga kya fibre ekimala gwegulina okukungulwa, ebimuli bya mukonzikonzi akuze alina ebimuli nenduli ezilimu emiwulenge bweziba zisaliddwa. Ebisagazi ebiba bikuze enduli yaabyo eba erabika era ebikoola biba biweebwa emisu.