»Okwanganga akawuka akaletera ebikoola byennyanya okugongobala«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/managing-tomato-leaf-curl-virus

Ebbanga: 

00:13:23

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

MSSRF
»Okugongobala kwebikoola tekusobola kuvumulwa naddagala lyonna. Obulwadde busasanyizibwa obusowera obweru. Enkola esingako ey‘okuziyiza obulwadde yeyokuyita mu kugema emmerusizo ya katimba esobola okukuuma endokwa. Bwewetolooza ennimiro y‘enva kiyamba okujja obusowera kumulamwa. Abalimi mu maserengeta ga Buyindi batulaga engeri n‘obupapula obwakyenvu okuli amasanda neddagala eritta obuwuka n‘enkola ez‘enjawulo.«

Akawuka akaletera okugongobala kw‘ebikoola by‘ennyanya bwebumu ku bulwadde obwamanyi obuleetawo okufiriizibwa okwamanyi era nga bwetaaga okwangangibwa. Bwebwangangibwa obulungi, enva endiirwa zisobola okuleeta amagoba.

Obulwadde obugongobaza ebikoola buleetebwa ekika kyakawuka ekya virus, akasasanyizibwa obusowera obweru bwebunuuna omubisi okuva mukimera n‘ekikosa ebirime ng‘eennyanya, biringanya, cauli flower, obumonde, n‘etaaba. Ebikoola ebipya bibeera bitono, ebyezinga nga bidda wagulu. Okukunkumuka kwebimuli nga tebinnaleeta birimba era ebirime ebikoseddwa birabika nga bikonzibye.

Okulwanyisa kw‘obuswowera obweru

Okuva obulwadde gyebusasaanyizibwa obusowera obweru, okubuziyiza n‘okubulwanyisa kyeraga lwatu nti oba oziyiza okusasaana kwobulwadde . Obusowera obweru buzibu okulwanyisa n‘eddagala ly‘ebiwuka.

Kuuma endokwa okuva eri obusowera obweru ngogibikka akatimba. Weeyambise ebirime ebijja obuwuka ku mulamwa ( trap crops) okugeza nga kasooli, obulo n‘omuwemba. Goba obusweera n‘ebirime ebirina obuwoowo nga coriander, ebinzaali ebiganda. Weeyambise abalabe b‘obusweera abobutonede nga lady bird. Kawunyira oba entuungo enzungu (sunflower) nabyo bibusikiriza nebuva kumulamwa.

Weeyambise obutego obuliko akapapula okuli gaamu bweziba nga teziriwo zekolere gwe kenyini. Ffuyira nga weyambisa eddagala eritta obuwuka lyewekoledde nga weyambisa entanagwuzi, katungulu ccumu ne kamulali ofuuyire ku makya nakawungezi. Ku mutendera okutandikirwako ng‘ekimera kikula, ffuyira nga weeyambisa oil w‘e nniimu okugema okulumbibwa kwobusowera obweru.

Okwanganga obulwadde

Simba ebika by‘ebirime ebigumira obulwadde, kamula ensigo okuva mu bimera ebiramu. Tekako obusa bwawaka, kuula era oyokye ebimera ebirwadde.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:53Obulwadde bwokugongobala kwebikoola by‘ennyanya bwebulwadde obukulu obwenva endiirwa era bukosa ennyaanya, biringanya, cauliflower, obumonde ne taaba.
00:5401:20Katulabire ku bbiringanya naye okwanganga kutunulira birime byonna. Kikosa ebirime okumalako sizoni. Ziretera akawuka ekika kya virus era tekasobola kuttibwa na kyabukuumi bwonna.
01:2101:47Ebikoola byebirime ebikoseddwa birabika nga bitono, byefunyiza nga n‘obusiwa bwebikoola bwefunyiza nga budda waggulu. Ebimuli bikunkumuka nebirime ebirwadde birekera awo okukula nebikona.
01:4802:18Obulwadde busasanyizibwa obusowera obweru mu bwangu ennyo era busobola okusanyaawo ennimiro yonna.
02:1902:28Obusowera buwuka butini bweru era bulumbagana ebibala, enva endiirwa ne byokwewunda.
02:2902:44Bunuuna omubisi gwebibala olwo n‘ebusasaanya obulwadde era buzibu okubuziyiza nga weeyambisa eddagala eritta obuwuka.
02:4504:08Okwanganga; weeyambise ebika ebigumira obulwadde.
04:0904:21Kamula ensigo okuva mu bimera ebiramu.
04:2204:33Kozesa obusa bw‘ensolo zawaka ku kikolo kyekirime kulwettaka eggimu.
04:3405:12Kuuma endokwa okuva eri obusowera obweru ng‘obikka emmerusizo nakatimba.
05:1306:11Weeyambise ebirime ebijja obuwuka ku mulamwa nga kasooli, obulo n‘omuwemba.
06:1206:24Goba obusowera obweru nga weeyambisa ebirime ebyobuwoowo.
06:2506:43Ziyiza obusowera obweru nga weeyambisa abalabe baabwo abobutonde.
06:4406:50Simba ebimera ebisikiriza abalabe bobusowera obweru okwetolola ennimiro.
06:5107:16Zuula akaswera akeeru.
07:1708:40Obutego obwbulijjo bwebuba tebuliiko wekolere ebibyo kububwo era ogende ngoteeka 12 buli hectare.
08:4109:10Osobola okweyambisa era obugoba ensiri obwamasanyalaze (mosquito rackets).
09:1109:46Weeyambise eddagala eritta obuwukalyewekoledde; katungulu ccumu, entanagwuzi n‘ekamulali.
09:4710:06Ffutira ku makya nakawungezi era oyambale nga weesabise.
10:0710:18Ku mutendera ogusooka ng‘ekimera kikula, gema obulumbaganyi bwobuswera obweru nga weeyambisa niimu oil.
10:1910:38Empumbu (fungi) eyengeri emu yeeyambisibwa okutta obuswera obweru.
10:3911:12Oluvannyuma lw‘okuziyiza obuswera obweru yongera amaanyi munkola y‘ekimera.
11:1311:35Kkuula era oyokye ebimera ebikoseddwa.
11:3613:26Okuwumbawumba.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *