Mukooka asobola okukyusibwa nafuuka ow‘omugaso navaamu n‘ebibala singa oba omulembese. Kino kisobola okukolebwa ng‘oyita mu kusima ebinnya ebirembeka mukoka ebya kazibwako erinya zai pits ebikozesebwa okukwata mukoka ayita ku ngulu ku ttaka.
Zai pits bisimibwa na mikono nga beeyambisa enkumbi 25cm obugazi ne 20cm okukka wansi, era mu mabanga aga 90cm wakati webinnya. Ettaka erigiddwa mu kinnya lissibwa ekyemmanga we kinnya. Obusa bumulungulwa ne bussibwa mu kinnya nga tonnassigamu bulo oba muwemba, enkuba bwetonnya, obunnyogovu n‘obugimu bukunganira mu kifo webwetagibwa.
Ebiganyulwa mubinnya bya zai pits
Kasasiro n‘obusa bissimbwa mu binnya n‘ebye yambisibwa bulungi. Ebirime eby‘empeke, kawo nebisigalira byebirime bivaamu emmere y‘ebisolo. Kubinnya twetoloozaako line zamayinja neziyamba olufuufu olulimu obugimu okusigala mu kinnya.
Ebinnya biwa obukakafu ku kweyongera kwa ma kungula n‘okuyambako okukyusa embeera y‘eddungu okuyita mu kukwata mukoka mubinnya n‘obugimu .Emiti nga nagyo gisimbibwa mu binnya oluvannyuma n‘egyeyambisibwa mu ku bikka.
Okusima ebinnya bya zai pits
Ebinnya bisimibwa nga weeyambisa endogoyi esibiddwako enkumbi eyitibwa riper egenda nga esima layini, ekyuma ekyomulembe ekiyitibwa rake kyeyambisibwa okugenda nga kiramba ewo kusima ebinnya, oluvannyuma ebinnya bisimibwa ebigimusa n‘obusa n‘ebissibwamu. Enkola eno ekendeeza ku kozesa abakozi .
Ensi nga Burkina faso ne Niger beeyambisa ensima y‘ebinnya ebya zai pits.