Ebibala eby‘emiyembe bikulira mu budde bwanjawulo era okuginooga gyonna omulundi ogumu kivirako okufirizibwa. Okunoga nga weroboza emiyembe emikulu gyokka kigiyamba okukwatibwa obulungi era n‘okufuna amagoba amangi nga kwotadde n‘emiyembe egiri ku mutindo.
Emisinde ebibala kw‘ebikulira kisinziira ku kika ky‘omuyembe, obuggimu bw‘ettaka n‘ensonga endala ezigwa mu kkowa eryo. Emiyembe emikulu girina obubonero obw‘enjawulo omuli: obukonda bugwa munda,olususu lw‘emiyembe luba n‘obutonyeze era obukonda butandiika okukala.N‘olwekyo bwobeera otuusa okunooga fuba okulaba nga wekkennenya ebyo.
Bendera za langi ez‘enjawulo mu miyembe.
Engeri endala ey‘okumanyamu ebibala by‘emiyembe egikuze y‘okuteekako bendera za langi ez‘enjawulo ku matabi ag‘enjawulo nga gitandise okumulisa era n‘olunaku lwegyatandiika okumulisa luwandiikibwa. Tandiika okweroboza nga bwonooga ebibala by‘emiyembe okuva ku matabi agaasooka okumulisa ozzeeko ago agaamulisa oluvanyuma.
Ebikolebwa mu kukungula.
Ng‘omaliriza okumanya obukulu bw‘ebibala by‘emiyembe nga otunula ku ndabika y‘omuyembe, sala omuyembe okebere obungi bwa ssukaali ne langi y‘ekibala.
Kozesa ekyuma ekyeyambisibwa okukebeera obungi bwa ssukaali kino kikolebwa nga oyawuddemu ekibala ky‘omuyembe emirundi essatu. Sala ekitundu ekisooka nga oyawulamu ensigo ate ekirala sala okuva ku nsigo nga bwoyingira mu kinyama. Teekateeka ekyuma ekyeyambisibwa okukebeera obungi bwa ssukaali era okinyige okusobola okufuna omubisi. Tunuza ekyuma buterevu mu musana era osome obutafaali. Gyebukoma obutafaali okuba nga bungi, n‘obungi bwa ssukaali gyebukoma okweyongera.
Olupimo olw‘omutindo.
Ebbanga omuyembe kwegukulira lisinziira ku kika ky‘omuyembe n‘akatale k‘otunulidde. Obutale obw‘enjawulo bwagala ebika by‘omuyembe eby‘enjawulo n‘olupimo olw‘omutindo gw‘emiyembe.
Noga emiyembe nga togyonoonye era kino kisobola okutukibwakonga weeyambisiza ebyuma ebinooga ebiragiddwa nga obuti obuwanula kino kiyamba anoga okuggyako ebibala bulungi era n‘okugiteeka bulungi mu biseera. Buyamba okuggyako obukondaobuteera okuvaako endwadde okusaasaana era kendeeza ku busoboozi bw‘omuti okumulisa olusimba oluddako.
Jjukira okufuyira nga ebyeyambisibwa mu kunoga emiyembe nga tonatandika kufuyira osobole okutangira okusaasaana kw‘endwadde okuva mu nnimiro ey‘emiyembe emu okudda mu ndala.