»SLM04 Okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/slm04-road-runoff-harvesting

Ebbanga: 

00:07:40

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Countrywise Communication, CIS Vrije Universiteit Amsterdam
“Mukoka ava mu nguudo asobola okutumbula ekula y‘ebirime mu biseera by‘enkuba, oba singa aterekebwa mu bidiba asobola okukozesebwa okufukirira ebibala n‘enva endiirwa.“

Okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo kisobola okuleetawo enjawulo wakati w‘ekyeya n‘okukungula. Abalimi bagunjizzaawo enkola ez‘enjawulo okukwatagana n‘embeera y‘obudde, nga bakozesa enkola ennansi n‘okukozesa ne ku nkola empya.

Enkola z‘okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo zisobola okugabanyizibwamu mu ezo ezikozesa amazzi okuyita mu mukutu, ezo ezikungaanya amazzi amatono, ezo ezireka amazi okukulukutira mu nnimiro n‘ezo ezikunngaanyiza amazzi mu bidiba. Enkulukuta y‘amazzi esinziira ku bugulumu n‘obusirikko era amazzi ne gasaasaana mu nnimiro ne mu ttaka ekkalu n‘emiti gy‘ebibala.

Emiganyulo

Mu bifo ebibeeramu enkuba ey‘amaanyi, enkola y‘okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo esobola okukozesebwa ng‘amazzi gakungaanyizibwa mu kidiba mu nnimiro esobola okukozesebwa ku bibala n‘enva endiirwa.

Okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo kikuuma obutonde nga kiziyiza mukoka w‘ettaka , ettaka ly‘okungulu litwalibwa mu mugga ne kireka ennimiro n‘amakungula amatono. Kiyamba n‘okugatta amzzi mu ttaka.

Kiyamba okwongera ku makungula era n‘ebirime bikula bulungi ne kisobozesa n‘okusimba ebirime eby‘enjawulo.

 

 

 

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:40Enkola z‘okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo zireetawo enjawulo wakati w‘okukungula n‘ekyeya.
00:4101:30Enkulukuta y‘amazzi esinziira ku bugulumu n‘obusirikko.
01:3102:00Amazzi gasaasaana mu nnimiro ne mu ttaka ekkalu n‘emiti gy‘ebibala..
02:0102:40Ebbula ly‘enkuba lireetera ebimera okukala.
02:4103:50Okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo kikuuma obutonde era n‘okwongera ku makungula ku faamu.
03:5104:50Enkola z‘okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo zirina kukozesebwa mu bifo ebibeeramu enkuba ennyingi.
04:5105:30Okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo kisobozesa ebirime okukula obulungi ne kisobozesa n‘okusimba ebirime eby‘enjawulo.
05:3107:00Enkola z‘okukungaanya mukoka ku mabbali g‘oluguudo zigatta amazzi mu ttaka.
07:0107:40Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *