Muwogo y‘omu ku birime ebiriibwa mu Africa era omutindo gw‘ebikozesebwa mu kusimba gukosa amakungula n‘okuleeta ebitonde ebyonoona ebimera n‘ebirwadde noolw‘ensonga eyo ebikozesebwa birina okulondebwa n‘obwegendereza.
Ebikozesebwa mu kusimba muwogo birina okulondebwa n‘obwegendereza. Birina okubeera ebikulu ate nga biggimu nga by‘enkanankana n‘obuwanvu ba 30cm. Emiti gya muwogo egigenda okusimbibwa girina okuba eminene nga gisobola okukuuma ebiriisa ates nga birina amaaso 5. Emirandira n‘miti gya muwogo gimera nga giva ku maaso gano. Ebimera omuva emiti gya muwogo egigenda okusimbibwa birina okuba nga bimaze ebbanga eriri wakati w‘emyezi 6 ku 18 Naye bwegiba nga gya myezi 6, girina ekitundi ekyawaggulu ekya kiragala ate nga twetaaga ekitundu ekiriko ebiti ebiggimu nga binene. Emiti gya muwogo girina okuba nga tegirumbibwa bitonde byonoona birime n‘endwadde ku lwo kumera okulungi okw‘emitiegy‘okusimba n‘olw‘ensonga eyo gyetaaga okugijjanjabwa nga teginasimbibwa.