Nga amazzi bwegali ekizibu ekisinga ekisinga okutawaanya obulimi okusingira ddala mubudde bw‘ekyeeya, okufukirira kw‘okutonyeza kugonjoola ekizibu kino nga kuwa enkozesa y‘amazzi enungi, kukendeeza enddwade, okukuluguka kwettaka n‘okwongerayo ebiriisa wansi muttaka.
Amazzi ag‘ekigero gafukirirwa butereevu ku kimera.
Okuteekawo okufukirira kw‘okutonyeza
Ekisookera ddala teekateeka emerezo nga ngulumivu, t‘ekawo akuuma akakuba amazzi era n‘epipa ewanikidwa kubuw‘anvu bwa mita 1 – 2 amazzi gasobole okutonya obulungi. Teekamu obusengeja obulongosebwa buli luvanyuma lwa wiiki, teeka okuuma akapima amaanyi g‘amazzi kulupiira oluva ku kuuma akakuba amazzi, yalirira era oteekewo empiira ezitonyeza amazzi nga w‘eyambisa amabanda oba ebikozesebwa ebyangu by‘okufuna .
Eky‘okubiri, ziba empiira zamazzi nga oziweta era ozisibe. Zino zigogolebwa omulundi gumu mumweezi okusobola okukuma entonyeza y‘amazzi. Weyambise ebibika ettaka oluvanyuma lw‘okuteekawo empiira era ziyuunge ku lupiira olukulu oluva ku kuuma akakuba amazzi.
Tereka ebikozesebwa mukufukirira kw‘okutonyeza bwebiba nga tebikozesebwa era kyuusa ebyo eby‘ononeddwa. Ekisembayo kebera amaanyi gamazzi kunkomerero y‘empiira bulijo naye ddayo omulundi gumu buli wiiki osimbulize endokwa eziriraanye obutuli obufulumya amazzi ku mpiira.