Omutindo n‘obungi bw‘enva endiirwa ku kirime biva ku nkola y‘okulima endokwa mu mmerezo nga yeesigama ku mutindo gw‘ensigo ezaamezebwa.
Abalimi bakungula kitono nga kiva ku kukozesa ndokwa ezitali za mutindo ekintu ekikosa ebigulibwa n‘eby‘ekirime ekyo ebireetebwa okutundibwa ku katale.
Okulima endokwa
Okufulumya endokwa ez‘omutindo, kozesa ensigo ez‘omutindo ezikakasiddwa ezitalina ndwadde ezirina emikisa gy‘okumera emingi egyenkanankana. Siga ensigo mu mikebe omuli ebintu ebitalina bulwadde okugeza “vermiculite“, siga ensigo emu mu buli kasenge mu buwanvu bwa ssentimmita emu obikkeko n‘ekintu. Amazzi n‘empewo bya mugaso era tokkatira bitabuddwa.
Oluvannyuma lw‘okusiga, tuuza emikebe ku ntebe (bench) ez‘ebyuma. Weewale okukozesa entebe embajje n‘okutuuza emikebe ku ttaka okuziyiza endwadde eziyinza okuva ku ttaka.
Fukirira okumera kutandike er oluvannyuma teekako ebigimusa ebisobola okwetabula n‘amazzi oba ebigimusa eby‘amazzi nga biwezezza wiiki bbiri ku ssatu era oluvannyuma, teekawo ekisiikirize ekireetawo ebbugumu lya ddiguli eziri wakati w‘abiri n‘abiri mu ettaano ensigo zisobole okumerera okumu n‘okukula.
Nga zimezeddwa mu kifo awazimbiddwa, kakasa nti emikebe gya ppulaasitiika miyonjo era nga tegiri mu kisiikirize okufuna omusana. Kozesa eddagala eritta ebiwuka eryetabula amangu mu mazzi era nga ensigo oba ekirime kisobola okuliyingiza amangu ne w‘oliggye awalungi okuziyiza ebitonde ebyonoona ebimera n‘endwadde eziva ku ttaka.
Okusimbuliza endokwa
N‘ekisembayo, okusimbuliza endokwa kukolebwa nga wayise wiiki nnya n‘obutawera, Endokwa enywezebwa mu ttaka nga eteereddwa w‘efunira omusana obutereevu. .