Akawuka akakuba ebituli mu mmwanyi kitonde kya bulabe ekyonoona ebirime era kyonoona emmwanyi nnyingi bwe kiba tekitangiddwa bulungi. Okunoga emmwanyi okwa buli lunaku ye enkola esinga okuba ennungi okutangira obulwadde buno.
Additionally the fungus lives on tree for 2 days under sun and 15 days in shade, fungus is the only recommended pesticide for CBB and this should be sprayed in the afternoon when pollinating insects are few. Furthermore do not hang trap in trees as this will attract CBB and take good care during processing since 50% of CBB survive processing.
Okukomya okukula kw‘obulwadde
Bulijjo lambula ennimiro okukungaanya emmwanyi nga ozinoga ku muti oba nga ozironda ku ttaka, wabula, beera n‘ekkomo ku kutambuza ensawo z‘emmwanyi mu nnimiro era ggyamu ebisigalira ebiri mu nnimiro okusobola okukomya okukula kw‘obulwadde. Okwongerezaako, mu buli nnaku nkaaga fuuyira ettaka, empeke, ebikoola n‘eddagala eritabuddwamu “neem“ ssabbuuni, amajaani agavunziddwa, ebigimusa ebikoleddwa mu bikoola, eddagala eritta omuddo era owanike obutego mmita ssatu okuva ku ttaka nga kutegeddwako ekirungo ky‘omwenge okwetooloola olusalosalo okusobola okukwata ebiwuka ebyo.
Okwongereza ku ekyo, tendeka abakozi basobole okukutegeeza nga balina kye bazudde era ofuuyire obukutiya bw‘emmwanyi nga okozesa butto akenenulwa mu bibala oba eddagala eritta ebiwuka erikoleddwa mu pyrethrum nga amabala gazuuliddwa oluvannyuma tega obutego okukwata ebiwuka obutatoloka era zzaayo obukutiya bw‘emmwanyi butereevu eri omulimi okujjanjabwa nga bufumbibwa okumala eddakiika kkumi oba okwozebwa mu mazzi agalimu ssabbuuni okutta obulwadde.
N‘ekirala, bikka ensawo z‘emmwanyi, bulijjo fuuyira eddagala oba eddagala eritta ebiwuka ebyonoona ebirime nga likoleddwa mu pyrethrum era zikuume nga zibikkiddwako ettundubaali okwongera ku bbugumu munda eritta ebyana by‘ebiwuka nga n‘ekisembayo, kuumira empeke z‘emmwanyi mu buveera obukolagana n‘ebintu by‘obutonde okukuuma oluzzizzi nga terukyukakyuka era kiremese ebiwuka ebikuba ebituli mu mmwanyi okuyingira oba okuddamu okulumba emmwanyi.