Okulunda enjuki gwegumu ku mirimu egifuna mu balimi n‘abalunzi kubanga omubisi gw‘azo gulina emigaso ku bulamu ate era guvaamu ne sente.
Wabula, nga tonawakula mubisi abalunzi balina okwetegeka nokutegeka ebikozesebwa ebyetagisa okugeza esuuti, enkofira n‘akakaya, ebyambalwa mu ngalo, magetisis, akalobo akaliko omukonda, ekinyokeza omuuka, akambe, n‘ebibiriti okukakasa nti buli kimu kiri bulungi nga bawakula.
Ebikolebwa nga ogenda kuwakula
Beeranga oyambala engoye ezibikka omubiri okukakasa nti gukumibwa olwo opakire ebbomba enyokeza n‘ebinyokezebwa ebimalako paka nga omaze okuwakula.
Olwo okume embbomba enyokeza era oyambale ekyambalo kyowakuliramu.
Emirimu nga owakula
Sooka ofuuwe omukka nga ova munda, wansi wekisanikira era osembyeyo ku mulyango kubanga kino kijja kuvirako enjuki eziri ku mulyango okudda munda mu muzinga.
Awo ofuuwe omukka ku budinda obw‘awaggulu okukakasa nti enjuki ezibuliko ziyingira munda era bwomala okebere emikalu nga okozesa akambe okukoonakona ku budinda obwa waggulu kubanga obutalimu mubisi bwebukola amalobozi aggawaggulu.
Okwongerako, gyamu obudinda bw‘awaggulu nga okozesa akambe nga otandikira ku ludda olukalu, onyokeze enjuki eziri ku birimba, mpolampola zikuute zigwe mu muzinga era ebirimba ebikulu obisale bigwe mu kalobo.
Okwongerako, yonja obudinda obuli waggulu, butegeke nga bwebwabade olwo onyokezeemu omuko okuleteera enjuki zonna okudda munda mu muzinga.
Okulongoosa omubisi gw‘enjuki
Tandika nakumeyamenya ekirimba nga okozesa akambe, obiteeke mu kasengejja akayonjo, obikeko olugoye oluyonjo ku kalobo.
Okusembayo, akalobokabike nekisanikiraokinyweze era omubisi ogukenenuse oguteke mu mikebe egisanuuka okusobola okugukuuma obulungi.