Enkola ey‘okwanjaza amazzi ng‘ofukirira eviirako amazzi g‘omuttaka okweyongera waggulu, amazzi okulegama era negakola olunnyo ku ttaka ery‘okungulu.
Okwanjala kw‘amazzi wekubaawo,emirandira giba tegikyakola bulungi era giba tegisobola kuyingiza birungo kuva mu ttaka ekiviirako okwonoona ekirime. Okuwa omwagannya amazzi okulukuta kyamugaso nnyo ng‘olimira ku ttaka ery‘ebbumba. Okwewala amazzi okulegama, ettaka lisobola okuseeseetebwa naye olumu kino tekimala.
Okugulumiza ennimiro
Ennimiro ezigulumiziddwa zirina okuba ng‘obuwanvu bwazo buli ku kipimo kya 80cm ku 30cm ,80 to 100cm mu bugazi ne 500 to 1000m ,ku kaserengeto. Okugulumiza ennimiro kukekereza amazzi ,kuleetera amakungula okweyongera, era kukekereza obudde bwomala ng‘ofukirira kubanga amazzi gateekebwa ddala mu nkonko ekiyamba okukekereza sente ezisaasaanyizibwa ku kufukirira
Osobola okozesa ebyuma mu okugulumiza ennimiro mu bunnene bwoyagala . Ebyuma binno era bisobola okola obugulumu nga webisimba .
Okusimba ku nnimiro enzigulumivu
Emigaso gy‘ennimiro enzigulumivu giri nti, wewaabaawo enkuba eyamannyi, amazzi tegasobola kulegama waggulu w‘ennimiro ekireetera ebirime okw‘ononeka.
Woba osimba ebijanjaalo ebiyitibwa fava beans, tekamu ensigo emu mu buli sentimita 20cm era osimbe mu nnyiriri 3 .Weguba muweba, era ensigo zisimbe mu nnyiriri ng‘olekawo sentimita 15 mu makati g‘ennyiriri.
Nga wakamala okusiga ,totobaza ennimiro wabula emiruundi egidiringana jjuza bujjuza nkoko
Osobola okozesa ennimiro yo eno enzigulumivu sizoni 2 ku 3 ng‘osimba ko ebimmera byo woba toyagala ku kabala ttaka buli sizoni.