Obuwangaazi bwenva endiirwa ez‘ebikoola busobola okwongerwaako nga tweyambisa tekinologiya okwongeza era nekubezaawo akatale n‘okutangira okukyuukakyuuka kw‘emiwendo.
Enkwata y‘enva endiirwa oluvanyuma lw‘okukungula yankizo nnyo mukwongera omutindo kubanga kitangira okw‘ononeka kwe mere. Okukaza kutwaaliramu okuja obungi bwa amazzi gonna nga bwekisoboka mu mere okusobola okuziyiza okuvunda ekisuula omutindo. Mukino obuyongjo buyina okukakasibwa.
Okwongera obuwangaazi kunva endiirwa
Obuwangaazi bwemere bwongerwaako okukakasa nti tegwaawo okuyita mu mwaaka. Obunyogovu bugibwaamu nga bakozesa ebugumu ery‘ekigero.
Mukw‘eyongerayo, obuwangaazi bwemere bwongerwaako mungeri nyingi nga okukenenula wamu nebugumu. Emere ekazibwa teyina kulekebwa nga simbike era kozesa enkola z‘okukaza enungin‘ebikozesebwa okw‘ewala emere okw‘ononeka, esweera, enfuufu n‘ebiwuka.
Enva endiirwa nga ennyaanya, ebikoola bya kawo, emboga wamu n‘ebikoola by‘ensujju bisobola okukazibwa.
Munkukola, enva endiirwa zisalesale obutundutundu okusobola okukala amangu era zinyike mukitundu 1 eky‘omunyo mu bitundu 5 eby‘amazzi.
Mungeri yeemu nyika okumala edakiika 3, tulula enva endiirwa bulungi ozisaasanyize ku lusaniya bulungi okukala. kozesa ekalizo okakanyaze.
Ekisembayo, Pakira mumikebe ejitayingiza mazzi era otereke mukifo ekikalu.