Okuvamu kw‘eggwako kye kimu ku bizibu ebikosa omulimu gw‘obulunzi bw‘ebisolo era nga kino kireetebwa ensonga nnyingi.
Ekintu kyonna ekireetera obutateerera mu bisolo kizivirako okuvamu eggwako era nga mu bino mulimu; ennume nnyingi zitawaanya nnyo embuzi eziri eggwako kino ne kiviirako embuzi okufuna ekkabiriro olwo eggwako ne livamu. Endwadde nga brucellosis ne clostridium nazo ziviirako okuvamu amawako. Singa ekiyumba ky‘embuzi kizimbibwa nga tekiyisa bulungi mpewo ate nga kitono nnyo nakyo kiviirako embuzi okuvamu eggwako.
Okuziyiza.
Okuvamu kw‘eggwako nga kivudde ku ndwadde kisobola okuziyizibwa nga bagema. Ensolo bwezibeera nga zirina eggwako eriri wakati w‘emyezi 2 ku 4 zigeme nga oziyiza brucellosis ne clostridium amangu ddala nga ensolo yakazaala. Okuzigema nga otangira brucellosis nga zikyali mawako kiviirako okuvamu kwa mawako.
Ensolo nga ziri ggwako tozikiriza kutambulatambula naddala ezo ezirina eggwako ery‘emyezi essatu.
Ziriise nnyo naddala eziri eggwako wabula bweziweza emyezi 4, kendeeza ku by‘oziriisa osobole okuziyiza akaana obutagejja n‘okuzaalibwa amangu.
Ensolo bw‘evamu eggwako, giwe ebirungo ebitwala ebbanga eddene mu mubiri nga mulimu vitamin ez‘enjawulo ne oxytetracycline okutuusa nga zizemu okuwaka nate.