»SLM02 Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/slm02-fanya-juu-terraces

Ebbanga: 

00:05:35

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Countrywise Communication, CIS Vrije Universiteit Amsterdam
»Fanya juu kitegeeza „kasuka ettaka waggulu“ mu Kiswahili. Enkonko zikolebwa era nga nnungi ku muddo gw‘ensolo era guyamba okwewala mukoka w‘ettaka. Okulima kufuuka kwangu kuba enkonko zisaasaana okuteeka ettaka ku level era bwegigattibwa n‘ekigimusa kyongera ku makungula.«

Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zongedde ku mutindo mu ndabirira y‘ettaka n‘amazzi. Okulima kufuuka kwangu ng‘enkonko zisasaanyiziddwa okuteeka ettaka ku level ate bwe liteekebwamu ekigimusa amagoba geeyongera.

Zino zikozesebwa nnyo abalimi abalina ettaka ly‘okubuserengeto okuyamba okukuuma amazzi n‘okwewala mukoka w‘ettaka.

Okuzimba

Ettaka lirimibwa okuva mu mifulejje nga likasukibwa waggulu okukola obugulumu obulina obuwanvu bwa sentimita 40 ku 50 era nga bweyawudde sentimita nga 10 ku 20 okusinziira ku bugulumivu kw‘ennimiro. Okuzimba n‘okukuuma kukolebwa ng‘okozesa ebikozesebwa eby‘engalookukuuma obuwanvu bw‘obugulumu.

Oluvannyuma lw‘akabanga ettaka wakati w‘obugulumu butuuka ekiseera ne bubeera ku mutendera gumu n‘okutegeka ettaka ly‘okusimbamu ebirime. Embalama enseeteevu zisobola okufunibwa. Omuddo gusimbibwa ku nkonko okukuuma embalama. Okukasuka ettaka ku nkonko kyetaagisa okukuuma obuwanvu bw‘enkonko.

Mu biseera by‘enkuba ey‘amaanyi, ebisagazi bisimbibwa kubanga biwa emmere y‘ebisolo. Amenvu gakula nnyo mu budde obuweweevu wansi w‘enkonko.

Emiganyulo

Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya ziyamba okukuuma obuweweevu n‘okwewala mukoka w‘ettaka olwo ne kigumya n‘okwongera ku makungula g‘ebirime.

Emiti nga emiyembe, amapaapaali n‘omuti gw‘ekika kya Grevillea robusta ogukola emirimu egy‘enjawulo, gisimbibwa wamu n‘enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya.

Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zikakasiddwa okuba engumu era zigumira enkyukakyuka y‘obudde. Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zeesigamizibwako abalimi abalima ekitono mu buvanjuba bwa Kenya.

 

 

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:55Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zitaddewo enkola eyambye Kenya okukuuma obulungi ettaka n‘amazzi.
00:5601:10Okuzimba n‘okukuuma embalama ng‘okozesa ebikozesebwa by‘engalo.
01:1101:30Ettaka wakati w‘embalama lisaasaana bulungi nga wayiseewo ebbanga okuyita mu mukoka w‘ettaka.
01:3101:45Omuddo oba ebisagazi bisobola okusimbibwa okutebenkeza embalama.
01:4601:50Amenvu gasobola okusimbibwa wansi w‘enkonko kubanga gakula nnyo mu budde obuweweevu wansi w‘enkonko..
01:5102:10Embalama zirina okukeberebwa bulu kadde okukuuma obuwanvu bwazo.
02:1103:45Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zongera ku makungula era zisobola okukozesebwa ne mu miti.
03:4604:40Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zikakasiddwa okuba engumu era zigumira enkyukakyuka y‘obudde .
04:4105:35Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *