Olw‘okubeera ekiva mu nte ekijjudde ebiriisa, omutindo gw‘amata n‘obungi bwago biva ku nkama, endiisa n‘obulamu bw‘ensolo.
Ebbanyi bulwadde bwa kitundu kya mubiri ekivaamu amata, ekibeere. Obuwuka obusirikitu bulumba ennywanto nga buyita mu misuwa gyokubusongezo bw‘ennywanto ne buleeta obulwadde. Ebbanyi kulwanagana wakati w‘obuwuka obusirikitu obulumba ekibeere n‘ente erwanyisa obulwadde.
Okukebera ebbanyi
Nga okuzuula amangu ebbanyi n‘okulijjanjaba kikendeeza okukosebwa ku bitundu by‘omubiri n‘obuwuka okusaasaana okuva ku nte emu okudda ku ndala, akama alina okukebera obulwadde bw‘ebbanyi era okwate ku butundu bwonna nga onoonya enkyukakyuka mu kibeere nga tonnakama.
Okukebera ebbanyi, ekikopo ekikebera amata kirina okukozesebwa mu buli katundu ka kibeere nga tonnakama. Kino kikolebwa nga oteeka amata ag‘okukebeza mu kikopo ekikebera, okukebera obutundu bw‘omusaayi ogwekutte mu mata. Nga ebbanyi lizuuliddwa, akama alina okukuuma amata g‘ebbanyi nga agaawudde ku mata amalungi.
Okujjanjaba ebbanyi
Omutendera ogusooka ogw‘okujjanjaba ebbanyi gwe gw‘okukamira ddala ente efunye ebbanyi era oluvannyumako amata ago gayiibwa bulungi. Nga okama ente emirundi n‘emirundi nga bwe kisoboka, obuwuka obusirikitu n‘obutaffaali obufudde buggibwa mu kibeere ekintu ekimalamu obulwadde.
Mu ngeri yeemu, okujjanjabisa eddagala mu ngeri ennungamu kugobererwa, olupiira omuyisibwa eddagala erirwanyisa obuwuka luyisibwa mu nnywanto okumalawo okuzimba n‘okukendeeza obulumi. Soma endagiriro y‘omukozi w‘eddagala mu ddagala lyonna erikozesebwa mu nte ez‘amata. Amata tegasobola kunywebwa bantu okumala ennaku eziwerako oluvannyuma lw‘okujjanjaba.
N‘ekisembayo, togatta mata galimu bulwadde na mata agavudde mu nte ennamu. Wandiika ennaku z‘omwezi, erinnya ly‘ente oba ennamba n‘ennywanto endwadde. Bino bya kugeraageranya n‘okuddamu okuzuula obulwadde singa bubalukawo.