Engeri obulunzi bw‘ente gyeguli omulimu gwetunzi,omutindo n‘omuwendo gw‘ebyo ebivamu kisinzira ku tekinologiya agakozeseddwa mu ndabirira yaazo.
Ebbanyi nga bwerikendeza obungi bwa mata, omutindo gw‘amata n‘obulamu bw‘ensolo, okukama kukolebwa mangu okugyamu amata galeme kukosa nywanto oba zirime kufuna bbanyi erireetebwa obuwuka obuvaako endwadde mu nywanto ekiyamba ku kutangiramu endwadde ku faamu.
Okuziyiza ebbanyi
Okuziyiza ebbanyi, kendeza ku bimalamu ente amaanyi nga okuuma amabeere gaazo nga mayonjo n‘enywato okuba ennyonjo ate nga nkalu.
Mu ngeri yemu yambalanga ggiraavuzi bwoba okama amata okukendeza ku ndwadde n‘okufuyira enywanto n‘eddagala erizifuyira. Ebbanyi lireetebwa obuwuka obuvaako endwadde lijja mu mabeere okuva ku mimwa gy‘enywanto ezirina amabwa n‘olwensonga eyo olina okufaayo okulabirira emimwa gy‘enywanto.
N‘ekirala wewale okukama ennyo ente era okuume n‘ekifo wokamira ng‘okuubira omukugu ku magezi n‘okufaayo ennyo okwekennenya kuby‘ebbanyi ku faamu yo.
Mu bufunze okwekennenya ku bbanyisss, amata amangi, kebeera eggana, yogerako n‘omusawo w‘ebisolo era okole nga bwolagiddwa.