Mukubeera emu kubintun ebisumbuwa obulunzi bw‘ebisolo, obulamu bw‘ensolo busalawo kumutindo n‘obungi bw‘ebiva mu nsolo.
Okukola kweddagala erigema kusinziira kubusobozi bw‘ekisolo okukiriza eddagala, enkw‘ata ennungi era nengeri gyerigabibwaamu. Eddagala erigema liteekebwa mu cupa okusinziira ku bipimo eby‘etaagisa.
Engaba ye ddagala
Mukusooka eddagala erigema libeera likoledwa nga tely‘etaga ku tabulwa era kino kiriziyiza okuva eri ebbugumu, omusana wamu n‘obunyogovu obusukiride mu kuritereka. Tereka mu firiigi ku bunyogovu bwa degrees 35 ku 40 era mukulikozesa tereka empiso mukinyogoza ekiziyiza omusana era ne bugumu erissukiride.
Mungeri yeemu wewale okugaba eddagala nga ente mpisi oba nga nkyaafu era n‘okukozesa eddagala, n‘obwegendereza nyeenya oba osuukunde ecupa ebirungo ebiri mu ddagala bisobole okw‘etabula. Nga bw‘okozesa omukono gumu okuwanirira ecupa nga y‘esuliseemu, kwatira empiso mu mukono guli omulala era oteeke empiso wakati wa rubber stopper. Teka empiso mu cupa okusika obungi bweddagala obw‘etagisa era oluvanyuma, empiso gigye mu cupa era ogyemu empewo.
Nga tonaba kuwa ddagala, siba ensolo era olonde ekifo aw‘okukuba empisa mumwaaso gekibegabega era awala n‘awawukanira omukono. Kakasa nti ekifo kiyonjo era nga temuli bigulumu.
Mukw‘eyongerayo mukukuba empiso, kozesa empiso empya era oluvanyuma salawo ekifo osike eddiba ly‘okubulago bw‘ensolo okutondawo ekifo aw‘okufumita empiso nga wewala omusuwa. Sindika eddagala era ogyemu empiso era ote eddiba.
Oluvanyuma lw‘okugema, longoosa empiso n‘amazzi ag‘okya era tokozesa ddagala lita biwuka. Kozesa empiso egendamu eddagala ery‘enjawulo buli kiseera era lamba empiso okulaga ekirimu.
Ekisembayo kulw‘okufunamu okulungi, eddagala erigema liyina okukozesebwa nga libikule era suula empiso yonna okusinziira kumateeka.