Okuzimbira embuzi wamu n‘ekika eky‘okulunda bikulu nyo mubulunzi bw‘embuzi.
Obulunzi bw‘embuzi obw‘amagoba, zimbira embuzi kubanga kinokitangira. Ennyumba ezimbidwa esobola okubeera nga eri wansi oba wagulu naye yona eba ezimbiddwa, kakasa nti okuuma obuyonjo kubaanga enzimba embi er‘etera obubuzi obuto okuffa.
Ennyumba y‘embuzi ewanikiddwa
Bw‘ozimba ennyumba y‘embuzi ewanikiddwa,kakasa nti ennyumba ewanikiddwa kubuwaavu obulagirwa kwekugamba ekitono enyo mita 1 wagulu esobole okukiriza omuntu okugenda wansi asobole okulongoosa. omugaso gw‘okuwanika ennyumba kwekwaawula embuzi ku bubi bw‘azo.
Ennyumba y‘embuzi esaanye ezimbibwe kunsonda y‘ekikomera sosi wakati. Kino kireetera enteekateeka okugamba okuyingiza embuzi okwaanguwa kubaanga ebisolo mubutoonde by‘agala nyo obusooda.
Okwaawula embuzi
Okubeera n‘embuzi ezittaza magoba ku faamu yo kiretera okufiirizibwa kubanga oteekamu sente mu kuliisa n‘okuzilabirila naye ate nga teziza magoba n‘olweekyo okw‘awula kw‘etaagisa.
Yawulamu embuzi enkadde. Embuzi enkadde buli kaseera zija kuvaako obw‘oya ku maliba gaazo neku nyiindo. Mungeri ey‘ekikugu, emyaaka gy‘embuzi gisobola okumanyibwa nga okebera amannyo gaazo. Nga zikuze bulungi, embuzi eja kubeera n‘emigogo ena ej‘amannyo. Amannyo gatandika okutereera kumyaaka 7, ku myaaka 8 gatandika okuyimpawa era ku 10 gatandika okuw‘ankukamu.
Embuzzi enkadde ziyina amaanyi matono agalw‘anyisa enddwade era singa wabaawo enddwade yona, emikisa gy‘kuwona giba mitono. Zivaamu kitono kwekugamba zizaala omuluundi gumu oba obutazaala yadde mu mwaaka kyoka nga embuzi et‘ekeddwa okuzaalaemirundi ebiri buli mwaaka.