Enkoko ezirundibwa nga zitaayaaya ze zisinga okwagalibwa kubanga ziwooma okusinga ezo ezirundbwa mu nkola endala.
Okutandika faamu y‘enkoko enaawangaala, weetaaga ettaka erimala eriteekeddwaako obukuumi okuva ku miriraano/ ekikomera era erina okuba n‘ebisiikirize. Kikulu nnyo okuteekawo engeri ez‘enjawulo ez‘okwetangiramu endwadde ku faamu wano ng‘eddagala eritta obuwuka liteekebwa ku mulyango gwa faamu oba ekiyumba ky‘enkoko mu ekyo nti buli ayingira faamu oba ekiyumba ky‘enkoko yeefuuyira eddagala okwewala okuleeta endwadde mu faamu.
Ebirala ebigobererwa
Weewale mukoka okuyingira ekiyumba ky‘enkoko ng‘ofuna omukutu awayitira amazzi kumpi n‘ekiyumba ky‘enkoko oba okuzimba ku omulyango gw‘ekiyumba olunyiriri lumu oba bbiri eza bulooka.
Teeka obukuta wansi enkoko we zisula okuzeewaza okubeera mu kalimbwe kubanga kino kizireetera endwadde okugeza endwadde y‘amawuggwe mu nkoko mu bunnyogovu.
Zimba ekiyumba ky‘enkoko nga tekiyingiramu mmese ng‘ogendera ku zimba y‘ebiyumba by‘enkoko emanyiddwa era ebinyonyi obiwe ebbanga erizimala okuzannyiramu wabweru naye kakasa nga wabeera wayonjo buli kadde.
Lekawo ebibangirizi mu luggya era ebiriibwamu n‘ebinywebwamu enkoko oleme kubiteekera ddala ku ttaka okwewala okuyiika. Ziyiza ebinyonyi ebitalundibwa kubanga bivaako endwadde okugeza coryza.
Leeetawo emmere yo okukendeeza ku ssente ezikozesebwa okugula emmere y‘ebinyonyi.