Mu kulunda enkoko ez‘enyama, kukuza n‘eddiisa bisomooza byamaanyi. engeri ennungi mu nkuza n‘eddisa eya ssente ezawansi biyamba okwongera ku mutindo gwa makungula mu mulimu gw‘okulunda enkoko z‘ennyama.
Mukulabirira obukoko obut, okuyingiza omukka gw‘obulamu kintu kikulu nnyo. Twetaaga okutekawo olupiimo olwebwenkanya wakati w‘okuwa enkoko ebugumu n‘okufulumya omukka omubi okugeza nga carbon dioxide, ammonia and carbon monoxide okuva mu kiyumba ky‘enkoko era kino tukikola nga tweyambisa endabirira y‘entimbe nga tusobola okwambusa oba okusa entimbe nga tusinziira kumbeera embeerawo mu kaseera ako.
Endabirira y‘olutimbe
Entimbe mu kifo awakuzibwa enkoko zambusibwa oba zisibwa okusinziira ku neyisa y‘obkoko obuto ne kukusoma kwa thermometer . Bwe buba ng‘obudde bwakya, oyongeza ku nnyingiza y‘omukka ogwobulamu ngossa olutimbe ate era singa obudde bubeera bunyogovu nnyo kendeeza ku nnyingiza y‘omukka ogwobulamu ng‘oyambusa olutimbe naye lekawo ebbanga lya sentiminta kkumi nataano (15 cm) okuyingiza empewo empya mu kiyumba. Embeera nsobi okwangeza olutimbe okuviira dddala wansi okwambuka waggulu kubanga kino kisanyaawo okukungaaana kwe bugumu.
Okukungaana kwa Amoniya (ammonia) mu kiyumba ky‘enkoko kireeta olusu olubi mu kiyumba, okusiyibwa kwa amaaso g‘enkoko n‘okwonoona embeera y‘okussa kw‘enkoko.
Endiisa y‘enkoko
Okuva ku lunaku olusooka okutuuka kunaku kkumi nannya, enkoko ziwe emmere esookerwako (starter)ng‘ekoleddwa ebitundu abiri mu kimu ku buli kikumi eby‘ekirungo ky‘emmere ezimba omubiri. Eno emmere ebeeramu ekiriisa ekirungi era eyamba mu kukula okwamangu okw‘ebitundu eby‘omunda mu nkoko. Okuva ku nnaku kkumi nannya okutuuka ku nnaku abiri mu lumu enkoko ziwe emmere etabuddwa ekuzza (growers mash) n‘okuva ku nnaku abiri mu lumu okutuuka ku nnaku abiri mu munaana enkoko ziwe emmere emmaliriza (finisher). Kikulu nnyo okuwumuzamu enkoko zo. Ziwe essaawa ey‘ekizzikizza okusobola okwumulako n‘okwasayasa emmere mu lubuto.
Mu nnaku ettaano ezisooka, tabula eddagala erimalawo ekiwuubaalo (an anti stress) mu mazzi g‘enkoko okukakanya ekiwubaaalo mu nkoko. Laba nti bulijjo enkoko zirina amazzi amayonjo/amalungi ag‘okunywa buli kadde.
Gezesa olabe oba enkoko zibadde zirya oba kunywa mazzi gokka oba byombi okulya n‘okunywa. Singa omubiri gw‘enkoko gukaluba‘ olwo ebadde erya buli kyokka, singa omubiri gw‘enkoko gugonda nnyo, kiraga nti enkoko ebadde esibirira mazzi gokka n‘era singa omubiri gw‘enkoko kulabika bulungi kiraga nti enkoko ebadde ekola byombi olya n‘okunywa.