»Entabula ennyangu ey‘emmere y‘enkoko, ekitundu ekyokubiri«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=d0MF8sQ7vdo

Ebbanga: 

00:11:48

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AIM Agriculture
»Akatambi kano kakunnyonnyola engeri ennyangu era esoboka, gy‘oyinza okutabulamu emmere y‘enkoko awaka. «

Abantu bangi bali mu bulunzi bw‘enkoko ez‘ennyama naye emmere ky‘ekintu ekisooka mu kubakaluubiriza. Kino kiyinza okugonjoolwa nga abalunzi beetabulidde emmere eyaabwe.

Okufuna akasawo k‘emmere y‘enkoko ez‘amagi akaweza kkiro ensanvu, weetaaga kkiro asatu mu nnya eza kasooli/engano oba muwogo akaziddwa era n‘asekulwa, kkiro kkumi na bbiri eza ssoya asiikiddwako oba afumbiddwa, kkiro munaana ez‘ebyennyanja ebisekuddwa, ccacu wa kasooli oba ow‘engano wa kkiro kkumi okufuula emmere empoomu, layimu wa kkiro mukaaga kwe kugamba nga wa kipimo eky;ebitundu bisatu ku buli kikumi eby‘emmere ate nga takka wansi wa bitundu bisatu ku buli kikumi, ebirungo, era nga eby‘omugaso mulimu; lysine (ggulaamu nsanvu), methionine (ggulaamu nsanvu), nga n‘ekisembayo ky‘ekirungo ekikwata obutwa ekiyamba okukendeeza ku bibi ebyandivudde ku butwa obusangibwa mu birungo.

Emmere y‘enkoko ezikuzeemu

Okufuna kkiro ensanvu ey‘emmere y‘enkoko ezikuzeemu, weetaaga kkiro abiri mu musanvu eza kasooli oba engano, kkiro abiri mu ssatu eza ccacu owa kasooli oba engano, kkiro ssatu n‘obutundu buna obwa ssoya asiikiddwa oba omufumbe, kkiro kkumi n‘emu ez‘ebikanja bya ssoya oba ensigo za ppamba omumaze okukamulwa butto, naye bwe bibeera bya ppamba alina kubeera ppamba aggidwako ebikuta. Mu birungo ebirala mulimu ggulaamu nsanvu ez‘amagumba amasekule, kkiro za layimu ssatu, n‘ebirungo ebitonotono okuli ggulaamu ataano ez‘ekirungo ekikwata obutwa, ggulaamu kkumi na nnya ez‘omunnyo, ggulaamu ataano ez‘ekirungo kya zink wamu ne ggulaamu ataano ez‘ekirungo kya lysine.

Emmere y‘obukoko obuto

Okukola emmere y‘obukoko obuto, weetaaga kkiro asatu mu emu n‘obutundu butaano eza kasooli oba engano oba kkiro mwenda n‘akatundu kamu eza ccacu, kkiro musanvu n‘obutundu nsanvu mu bubiri ez‘ensaano y‘engano, kkiro kkumi na mukaaga n‘obutundu munaana eza ssoya, ggulaamu emu n‘obutundu butaano okutuuka ku ggulaamu emu n‘obutundu munaana ez‘ebyennyanja ebisekuddwa, kkiro emu n‘ekitundu eza layimu wamu n‘omunnyo ogutasukka kipimo kya ggulaamu asatu.

Ebirungo ebitonotono eby‘obukoko mulimu; ggulaamu nkaaga ez‘ekirungo kya coccidiostat, ggulaamu ataano ez‘ebirungo by‘obukoko ebyatabuddwa edda, ggulaamu ataano ez‘ebirungo bya enzyme, ggulaamu ataano ez‘ebirungo ebikwata obutwa ne ggulaamu ataano ez‘ekirungo kya methionine naye nga ekyo osobola okukireka.

Eby‘okwegendereza

Ebyennyanja ebisekule birina okufumbibwa nga temuli buwuka bwonna nga tennakozesebwa era n‘ensigo za ppamba zirina okuggibwako ekikuta.

Tosussa kipimo kiragiddwa eky‘amasazu ne butto naddala mu mmere y‘enkoko ez‘amagi kubanga bino byongera ku bungi bw‘amasavu mu nkoko era ku nkomerero tolaba ku ggi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:25Ebirungo n‘ebipimo byabwe ebikozesebwa mu kutabula emmere y‘enkoko ez‘amagi.
01:2601:50Ccacu wa mugaso kubanga aleetera emmere okuwooma era ayanguya okukubwa kw‘emmere mu lubuto.
01:5102:19Obungi bwa layimu tebulina kukka wansi wa bitundu bisatu ku buli kikumi eby‘emmere.
02:2005:19Ebirungo ebikwata obutwa biyamba okukendeeza ku bibi ebireetebwa obutwa mu birungo ebiteekebwa mu mmere.
05:2006:09Ebirungo ebingiko ebyetaagisa mu okukola emmere y‘enkoko ezikuzeemu.
06:1006:43Ebirungo ebitonotono ebyetaagisa mu kutabula emmere y‘enkoko ezikuzeemu.
06:4408:10Ebirungo ebingiko ebikozesebwa mu kuteekateeka emmere y‘obukoko obuto.
08:1110:00Ebirungo ebitonotono mu kutabula emmere y‘obukoko obuto.
10:0111:30Ebyegenderezebwa mu kutabula emmere y‘enkoko.
11:3111:38Okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *