Olwokuba eky‘amaguzi ekirungi, mukulunda enkoko omutindo n‘obungi bisinzira ku mutendera n‘ekika kya tekinologiya ekikozesebwa.
Okulunda enkoko ez‘enyama kufuna nnyo naddala nga olunda nkoko za nyama era munno, wetaaga abakozi batono bwogerageranya n‘ebirundibwa ebirala okugenza ente z,amata, ente z‘enyama nebirala.
Endabirila y‘enkoko
Okuzimba ekiyumba ky‘enkoko z‘enyama, wetaaga okulonda ekifo ekitalegama mu mazzi nga empewo eyitamu bulungi nga enkoko zojja kusobola okukuuma ebbugumu lyazo. Yongera okukendeeza enkyukakyuka y‘ebbugumu nga ekiyumba okizimba nga kitunudde bugwa njuba -buva njuba okwewala omusana okukikubamu.
Mu ngeri yemu, ziwe 0.1sqm wansi buli nkoko 10. Gula obukoko bw‘olunaku olumu okuva eri abaluza abesigika kubanga okukula kw‘enkoko kusinzira ku kika kya bukoko bwoguze.Wekenenye omutindogw‘obukoko nga okebera oba buyonjo, bukalu era nga amaso gatangala nga tebulina bulemu bwona.
Enkoko z‘enyama zitundibwa nga ziwezeza wiiki 6 era mu kino, buli kakoko kalya 4kg era nga webutukira wano buba buzitowa kilo 2.2 ku 2.5. Enkoko zirisibwa kusizira ku mutendera kweziri era emere yazo mulimu etandikirwako, ekuza wamu neyakamalirizo. Enkoko zetaaga amazzi agamala okukula obulungi.
Yongera okuziwa emere endalala nga oyongeraza ku gyezirya okuziwonya ekabyo mu biseera bye buggumu eringi n‘ekisembayo enkoko zitunde mu butale obwokumpi.