»Amagoba n‘okufiirizibwa kw‘enkoko za kroilers(Kienyeji)«

0 / 5. 0

Ensibuko:

Ebbanga: 

00:10:09

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Africhic
»«

Obulunzi bw‘enkoko za kroiler bw‘ebusinga okuzza amagoba mukiseera kyekimu, y‘esinga okubeera ey‘okwegendereza kubanga bwotafuna magoba ofiirizibwa.

ky‘amugaso okutegeera nti ebinyonyi biyina obungi bw‘amagi byegayina okubiika kukiseera ekigere okusinziira kukika ky‘abyo.

Ebiva mu nkoko za kroiler (Kienyeji)

Ky‘amugaso okutegeera nti omwaaka wegutuukira okugwaako oja kubeera n‘ebintu bisatu kwekugamba amagi agasobola okw‘alula, ennyama, n‘obukoko. N‘olwekyo ky‘amugaso okulowooza kukatale k‘ebivuddemu.

Okusobola okufuna mu nkoko za kroiler, tegeera ekiseera ekituufu eky‘abuli kintu kubintu ebyo ebisatu. Okugeza, obw‘etaavu bw‘enkoko mw‘amanyi okuva mugw‘okuna okutuusa mugw‘omunaana. n‘olweekyo , oyina okubeera nenkoko ezibiika. Kubudde buno abantu bagala okugula amagi agasobola okw‘alula oba obukoko obw‘olunaku olumu obw‘okulunda.

Okw‘ongera ku nfuna

Okufuna amagi agayina obusobozi bw‘okw‘alula obuli wagulu, eyina okubeera empanga emu ku nseera musanvu. Kitegeeza nti ebitundutundu 65-70% eby‘amagi gayina okufuna enkw‘aso era mukumaamira, wano w‘oyina okufuna amagoba mukutunda obukoko.

Bw‘otunda amagi agalina obusobozi bw‘okwalulwa, abalungi ab‘aluza ago amagi bajja kukakasa nti obusobozi bw‘amagiigo okw‘alulwa buli wagulu n‘olw‘ekyo akatale ak‘amanyi eri amagi go.

Okuteekamu ensimbi n‘endabirira

Obulunzi bw‘enkoko eza kroilers (Kienyeji) bw‘etagisa okuzimba okwangu era omuntu asobola okukozesa amabaati oba obubaawo. Kino kikuletera okuteeka sente mukugula ebinyonyi bingi oba eby‘etagisa okugeza nga ekyuuma eky‘aluza wamu ne kkulizo.

Tolemererwa okugema ebinyonyi byo. Ky‘amugaso nnyo okusigala ku kola ez‘abuli lunaku nga okusala kw‘emimwa, okutta ebiwuka mulubuto, okukyuusa obukuta buli kiseera era n‘okuwa ebinyonyi ekirungo ekirimu ekiriisa ekikuza oluvannyuma lw‘okugema. Ku bino byonna kuuma ebiwandiiko okusobola okutegeera ow‘okukyusaamu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:17Obulunzi bw‘enkoko za kroiler bw‘ebusinga okuzza amagoba era n‘okwegendereza.
01:1802:19Ebinyonyi biyina omuwendo gw‘amagi byegayina okubiika mukiseera egigere.
02:2002:50Omwaaka wegutuukira okugwaako oja kubeera n‘ebintu bisatu okutunda.
02:5103:54Mukutegeera ebiseera ebituufu eby‘ebintu ebyo ebisatu okugeza obw‘etaavu bw‘enkoko n‘amagi bub‘eera wagulu okuva mu mw‘ezi gw‘okuna okutuusa ogw‘omunaana.
03:5505:10Omuwendo gw‘empanga ku nkazi guli emu kunkazi 7.
05:1105:40Okw‘alula okw‘awaggulu kitegeeza katale kalungi.
05:4107:03Enkoko enkulu zibeera ku katale okuva mu mweezi gw‘omunaana okutuusa mu mw‘ezi gwekumi n‘ebiri.
07:0407:35Obulunzi bwenkoko za kroiler kyetagisa kuzimba kwangu.
07:3608:18Emigaso gy‘enkoko za kroilers (kienyeji).
08:1908:56Okukuuma ebiwandiiko era wekaanye emiwendo n‘ensasaanya.
08:5710:09Okw‘ekumira nzirukanya wamu n‘ekola ez‘abuli lunaku.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *