Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bukosezza nnyo eby‘emmere mu Kenya butereevu okuyita mu kukosa ensaasaanya y‘emmere n‘obuyambi.
Mu kuddamu, ekitongole ky‘ebyobulimi n‘obulunzi bw‘ebisolo n‘ebyennyanja kitongozza ennimiro eriraanye ekiyungu mu byalo ne mu bibuga n‘okuwa amaka agateesobola ennimiro eziriraanye effumbiro. Waliwo endowooza nnyingi omuntu z‘asobola okukozesa okuteekawo ennimiro eriraanye effumbiro ng‘okozesa ebikozesebwa ebiriwo.
Emmerezo erimu oluzzizzi
Emmerezo erimu oluzzizzi y‘emu ku nkola za tekinologiya eteekeeddwateekeddwa okuwa ettaka oluzzizzi olumala mu kifo ekirimirwamu ekitono. Waliwo ebika bibiri eby‘emmerezo erimu oluzzizzi; emmerezo erimu oluzzizzi engulumivu n‘emmerezo erimu oluzzizzi eyoomu binnya ey‘ebirime by‘emirandira.
Ebikozesebwa ebyetaagisa mulimu; akaveera, waya, emiti emiwanvu ena, ettaka eritabuddwamu ebigimusa mu kigero kya 1:1 buli kawuuba (wheelbarrow), omuddo omukalu oba ebisigalira mu ffumbiro, magalo, makansi, olukoba olupima, ekidomola ekifukirira, amazzi, ekitiiyo n‘endokwa.
Okuzimba emmerezo erimu oluzzizzi
Ekifo ekirondeddwa tekirina kuba mu kisiikirize era pima ekifo. Teeka obuti obutono w‘ogenda okusimba emiti. Pima akaveera akagenda okukozesebwa mu kukola ennyiriri, akaveera tekalina kubaamu bituli. Sala akaveera ng‘okozesa makansi, sala waya okusiba akaveera ku miti. Sala okusinziira ku muwendo gw‘ebifo bw‘okusimbamu era akaveera kalina okuba nga kaleegeddwa bulungi.
Kozesa amayinja amanene wansi, ku mabbali singa mubaamu amazzi mangi. Omutendera oguddako gw‘emmuddo omukalu oba ebisigalira by‘effumbiro nga enva endiirwa.
Okugattamu ettaka
Gattamu ettaka eritabuddwa n‘ebigimusa ku kipimo kya 1:1. Ettaka lirina okuba 20-30 cm mu kukka, tewali bbanga lirina kulekebwawo erisobola okuleetera okwonoona amazzi mu kufukirira.
Ng‘omaze okuteekateeka, fukirira emmerezo bulungi ogireke ppaka olunaku oluddako nga tonnasimba nva ndiirwa.