Emu kunkola ez‘okwongerako omutindo kubutiko kwekukola ensigo eziyitibwa spawn. ensigo z‘obutiko z‘ezisimbibwa.
Omutindo gusobola okugatibwaako okuyita mukukola ensigo nga weyambisa ensigo okugeza eziva mu kasooli, obulo wamu n‘omuwemba bisobola okukozesebwa. Omutendera ogusooka kwekukakasa nti ensigo ziri kumutindo era nga tez‘atise. Enimiro y‘obutiko ekutte obulungi ebeera njeru nga egonda ate nga ensigo ez‘ononese zijja kubeerako obutonyeze ebuddugavu, kyenvu oba obw‘akiragala.
Okukolebwa kw‘ensigo z‘obutiko
Sooka ofumbe ensigo okuyamba okujjamu empewo era n‘okuzigonza. Ensigo oluvanyuma zikazibwa era ekirungo kya limestone kigatibwaamu okusobola okutangira olunyo lwa pH6.8- 7.1. Kino kyakutangira ensigo obuteekwaata.
Ensigo ezitabuddwa oluvanyuma ziteekebwa mubicupa eby‘ekirawuli okw‘anguyirwa okugoberera enkula y‘obutiko. Amacupa gakozesebwa okutta obuwuka ku bugumu lya diguliizi 121 celcius era n‘amaanyi gebbugumu ga 1.5 bar ecupa ly‘esobola okugumira.
Embeera ey‘etagisa
Engeri y‘okutta obuwuka nga egendereddwaamu okutta obuwuka obusirikitu mu muwemba wamu ne cupa bikozesebwa. Ecupa esibibwa na pamba akozesebwa nga ekisengejja empewo okusobola okutangira oluzzizzi okuyingira. Oluvanyuma lw‘okutta obuwuka, ennimiro y‘obutiko et‘ekebwa mu macupa okusobola okukula okufuuka ensigo. Omutendera guno gukolebwa mu {graph box} okuziyiza okw‘ononeka.
Omutendera gy‘okugema
Sooka onaabe engalo neddagala eritta obuwuka nebikozesebwa, oluvanyuma koleeza omuliro okusobola okutta obuwuka obusirikitu mukifo ekyo kyonna. Ecupa erimu ensigo ebikulwaako netekebwa kumuliro. Ensigo oluvanyuma ziteekebwa mu cupa empya nez‘okebwa buto oluvanyuma pamba naddamu nasaanikirwaako.
Oluvanyuma ecupa zijje mu bokisi (graph box) era wandikako ennaku z‘omweezi ku cupa ezebanga obutiko lyebutwaala okumera. Kitwaala ebanga lyamweezi ennimiro okusobola okubuna ebikozeseddwa.
Okw‘erinda okulala
Ebbugumu obutiko lyebutwaala okumera teriyina kusukka 23°C-25°C kubanga kisobola okusanyaawo enimiro. Oluzzizzi luyina okubeera nga luli 80 percent okusobola okutangira okukala.