Okukwata obulungi ebikozesebwa kibiyamba okuwangaala n‘okukola obulungi mu kukozesa ebyuma ku faamu.
Ng‘emu ku ndabirira y‘ebbomba, okugirongoosa kyetaagisa okusoma endagiriro eri ku ddagala, amazzi amayonjo, akaveera, sabbuuni, akawero, akakutiya, akakebe, w‘owandiika n‘ebyokwekuumisa ebirala.
Ennongoosa y‘ebbomba
Okulabirira obulungi n‘okuyonja, kozesa ekifo ekyekusifu ewatali nsolo, baana n‘amazzi agalegama. Yambala eby‘okwekuumisa weewale okukosebwa eddagala era oyongere liita y‘amazzi amayonjo mu bbomba.
Mu ngeri y‘emu, singa endagiriro eri ku ddagala yeetaaga sabbuuni, gattamu amazzi, zaako akasaanikira onyeenye. Ggyamu olukoba olufuuyira n‘akasengejja k‘ebbomba omale oyiwe eddagala mu bbomba.
Okwongerako, kebera akasengejja, olukoba olufuuyira n‘akasengejja kaalwo okakase nti bitukula nga tonnabizzaako olwo yiwa amazzi g‘oyimunguzisizza woofuuyidde mu kifo ky‘ojjanjaba. Kozesa mazzi gokka okuyimunguza ebbomba emirundi ebiri mu ngeri y‘emu.
Yoza wabweru w‘ebbomba, yiwa amazzi g‘oyumunguzzaamu bulungi era ozzeeko obusaanikira ku mikebe okusobola okukuumibwa obulungi. Singa wabaawo amazzi agasigaddemu, zuula ekifo awali ebimera ebiteetaagibwa obiyiire osobole okuyumunguza ebbomba.
Okufundikira, toyiwanga by‘oyumunguzizza mu mazzi agalegamye awantu wonna.