Nga oyita mu kukozesa olujjegere lwona olwebikolebwa mu kulunda ebinyony, abalunzi basobola okufuna obutitimbwa bwa sente nekyongera ku nyigiza yabwe.
Okwongerako okulunda ebinyonyi mulimu ogufunira ddala. Nga ogyeko amaggi ne nyama waliwo engeri endala ezenjawulo abalunzi bebinyonyi mwebasobolera okukola sente okuva mu kulunda ebinyonyi.
Okukola sente
Sooka oyaluze olwo otuunde obukoko obwolunaku olumu eri abalunzi abalala kubanga babwetaaga okutandika okukola faamu y‘enkoko.
Nga oyita mu kukola emere y‘enkoko eyomutindo eyo ku faamu yo n‘abalunzi abalala kubanga okuliisa kutwala ebitundu 70 ku 100 ku sente ezitekebwa mu kulunda enkoko.
Era funa omukugu gwosasula mu kitundu okusomesa abalunzi b‘enkoko abalala.
Nga okunganya n‘okutunda ebyooya eri amakolero g‘ebyambalibwa kubanga ebyooya bikozesebwa okukola ebikuuma ebbugumu wamu nebikozesebwa mu kutimba.
Nga oyita mu kukola ebigimusa n‘omukka ogwobutonde ogw‘amasanyalaze okuva mu kalimbwe nga gufumba wamu n‘okugimusa ettaka.
Nga otunda ebikozesebw amu kulunda enkoko.
Ekisembayo, nga obikisa amaggi n‘enyama. Okusinga abalunzi betanira okukozesa obukuta n‘ebukeegi okusobola okufunamu ennyo.