Eggana erifanagana lyeryo nga ebinyonyi byenkana obunene n‘obuzito nga ebyawukanamu bitono ddala. Abazadde okufanagana kikulu nnyo ku ngeri eggana gyerikolamu.
Ebiseera ebisinga ebinyonyi ebifanagana byangu okulabirira era bikola bulungi. Waliwo ebintu ebyenjawulo ebivirako eggana okufanagana era nga muno mulimu, obungi bw‘eggana, enyingiza y‘empewo, ekitangaala, ebbugumu wamu n‘empaamu y‘amazzi. Okugatako kebera ebbugumu eriva emabega w‘enkoko okukakasa nti zirina emirembe.
Emitendera egyokutekebwa mu nkola
Tekanga obukoko obw‘olunaku olumu mu kifo ekiyonjo nga kyafuyibwamu nga mulimu ebbugumu eddungi nga n‘empewo eyitamu bulungi.
Kakasa nti omukka gutambulamu era nekitangala mu kiyumba ky‘enkoko okusobozesa obukoko obuto okulaba emere n‘amazzi.
Era okendeeze oba oyongeze ebbugumu okusinzira ku ntambula y‘omukka era okakase nti emiwatwa omuyita empewo mirungi okutambuza empewo.
Kakasa nti obukoko obuto bulina amazzi n‘emere ebimala era osobola okimanya nga obuynyiga ku kisakiro.
Okwongerako, nga wayise wiiki 4 sengeka enkoko okusinzira ku buzito okusobola okuzilabirira obulungi.
Okugatako, enkoko ziwe amabanga agamala era oyongere okugaziya buli lwezeyongera okukula okuzisobozesa okulya obulungi wamu nokukola ddulyiro.
Emere gitekengamu kyenkayi mu nkoko mu biseera ebisanide era okakase ntiebinyonyi bifuna emere mu budde bwebumu.
Ekisembayo, ebinyonyi obipime era owandiike obuzito buli wiiki, wekenenye endya yabyo, engeri gyebyegabanyamu, esaawa z‘okuyonja wamu nokusa mu nkola ebyobuyonjo nokutta obuwuka.