Bwebiba by‘abulunzi, okulunda embuzzi kusigala nga gw‘emulimu okusiinga bwogerageranya ku bintu ebirala ebirundibwa ku faamu.
Kubanga mulimu ekiriisa, amata g‘embuzi ganywebwa abantu abatagala nnyo mata era nokwagalibwa enyama y‘embuzi kuli waggulu kubanga ewooma era ereeta sente enungi bwogerageranya ne y‘ente.
Byogoberera nga olunda
Okulunda embuzi nga bwekwetaaga awantu awatono 10sqft buli mbuzi 10, ekiyumba n‘endiisa ssi bya beeyi bwogerageranya ku birundibwa ebirala. Embuzi ziwona n‘ebiseera by‘ekyeeya ekiwanvu era ziwa amagoba okusinga ensolo endala eziza obwenkulumu engeri gyezitwala ebbanga ettono okuzaala.
Mu ngeri yemu, Embuzi nyangu okukwasaganya, okuyonja wezisula wamu n‘okukuuma enyama yazo okusinga ente. Nga enyama y‘embuzi bweri enungi ku bulamu, njere nga erima amasavu matono okusiinga ey‘ente era nga amata galina olusavu lutono nga mulimu nnyo protein n‘ebiriisa ebirala.
Embuzi zivammu ebintu ebirala okugeza obusa n‘amaliba ebikozesebwa mu bulimu era embuzi zikosa kitono obutonde kubanga tezikatira ttaka nga ente. Bwogatta embuzi muby‘obulimi oyongera ku mutindo gw‘ettaka.
Okwongerako, embuzi zinyuma, zisobola okukumibwa nga ensolo ezawaka era nga ngumu okusinga endala ezirundibwa kuba zisobola okusimatuka embeera enzibu. Nekisembayo, kyotekamu wetaaga kitono okusinga ku birundibwa ebirala.