Okusanyawo ebbibira mwemuli emitendera gyokutema emiti n’ebibira era nga kikoosa embeera y’obudde mu ngeru etali nungi.
Okusanyawo ebbibira kuyinza okubawo kulwensonga nyingi okugeza okusambula awokolera emirimu emirala nga okulima wamu nokufuna embawo. Emiti gikozesebwa okukola ebintu bingi ebikozesebwa buli lunaku ekitegeeza nti tulina okutema emiti mingi okukola ebintu bino wabula kino kireeta obuzibu.
Ebirungi by’emiti
Okusanyawo ebbibira kutambulira ku misinde mingi nga emiti 46 gitemebwa buli dakika,. Kino kireeta ebizibu bingi mu butonde.
Emiti kikola omugaso mu kukwata omuka gwa Carbon wamu nokuvaamu omuka ogwobulamu ogwa Oxgyen bwegiba ng gikola emere yagyo. Okutema emiti kiretera omuka gwa Carbondioxide obutanunibwa mu banga negusigala omwo ate nga mukka gwa bulabe nga gusika ebbugumu nekivirako okwongeeza ku bbugumu mu nsi.
Nga enkuba ettonye, ebimera n’emiti binywa amazzi era nga biyita mu kussa, ebimera bifumula amazzi mu bbanga. Amazzi agafumuka gakola ebire mu bbanga ebisanuka nebiukola enkuba. Olujjegere kuno lutataganyizibwa emiti bwegisanyizibwawo.
Okukendeeza ku bulabe obuva mu kusanyawo ebbibira
Tusobola okukendeeza ku bulabe obuva mukusanyawo ebbibira nga tulondobamu era nga tutemamu miti gimu na gimu.
Okukuuma ebitundu ebikosebwa amangu wamu nokozeseza 3Rs ekitegeeza okukendeeza(Reducing) kwegamba nga tukozesa ebiva mu miti bitono, Okuddingana okukozesa (Re-using) ebikolebwa mu miti wamu n’okubikolamu ebintu ebiralala (Recycling)