Olwokuba ebyekiririisa ekyawaggulu eri abalunzi, obulunzi bw’ebinyonyi businzira ku kika n’omutendera gwa tekinologiya akozesebwa.
Okulunda ebinyonyi kukolebwa kufunamu maggi, nyama, sente wamu n’ekalimbwe akozesebwa mu nimiro mu nima ey’obutonde wabula, kawumpuli aletebwa akawuka ka virus era nga asigibwa mangi nnyo era asobola okutta enkoko mu kisibo mu naku ntono.
Enzijjanjaba ya kawumpuli
Nga kawumpuli asasana ebinyonyi ebiramu bwebikwatagana nebimera ebirwadde, engeri endala gyezikawtibwamu ava binyonyi ebigulibwa mu katale, ebikozesebwa ebitali biyonjo , kalimbwe wamu n’ebisibo ebirirwanawo. Obubonero mulimu okwasimula, okukolola, okusika omuka, okuzimba amaso, kalimbwe owamazzi ga kiragala, okulya ekitono oba obutalira ddala, okumanyuka ebyooya, okusumagira, obutaba nabyooya, okutagalatagala wamu n’okukyuka ensingo.
Okugattako, okwewala obulwadde, ekinyonyi kyona ekirina obubonero buno kirina okwawulibwa mangu ddala era nekitekebwa wala neggana era nokuyita omukugu okuwebwa ku magezi. Weyongere osale ebinyonyi ebiraga obubonero bwobulwadde obuyitiride era obizike oba ebyokye okusanyizibwawo.
Okwongerako, lwanyisa nga ogemesa ebinyonyi buli luberera, okuume obuyonjo mu kisibo era oleme kugatika nkoko nebinyonyi ebirala ebirundibwa. Ziwe emere enungi eyenkoko bwoba ozita era ozigemese kawumpuli oluberrera.
Ekisembayo, yogerako nabakugu bebisolo okufuna ku kuwabulibwa.