Kuba kya kiriisa nnyo ate nga kirime kya muwendo, omutindo gwa kasooli n’obungi bisalibwawo mutendera gwa tekinologiya akosesebwa mu kulima.
Nga ablimi bafuna sente nyingi mu kutunda kasooli, londa enimiro okukulukusa amazzi nga ettak liwewufu erea okakase nti tolimiramu muwogo mu sizoni evaako. Longosa enimiro, okunganye ebisaniko era obyokye nga wegendereza era oppime obunene bw’enimiro okusmanya obungi bw’ensigo.
Endabirira y’ebirime
Nga enkuba tenatonya, gula ensigo ezigumira omuddo wamu n’obulwadde okuva eri abatongozebwa okuzitunda nokusinzira ku biseera. londa ekika ekimala enaku 110 -0115 ku sizoni enene ate ezimala enaku 95-100 mu sizoni eyokubiri. Tekamu ebigimusa nga otesetese bulungi enimiro mu binya bay 20cm okuka wansi.
Mu ngeri yemu, kole ebinya by.obutumu ku bugazi bwa 25cm ku 75cm era otekemu empeke 2 buli kinya era ofuwemu eddagala erita omuddo enaku 1 ku 3 nga kasooli yakasimbibwa era tosimba birime birala mu kasooli. Kulamu omubi era olekemu ekikolo kimu buli kinya nga wayise enaku 15 okuva lwomusimye okusobola okuwa eminwe eminene.
Koseza obukopo bw’omwenge okupima ebigimusa ebitekebwamu era otekemu eddagala eritta ebitonde ebokosa kasooli omulundi gumu era ku wiiki eyomukaaga nga omazze okusimba. Yambala ebikusabika omubiri nga ofuyira era okyuse engoye nga omazze okufuyira era okoole nga okungaanya ettaka singa kaooli aba asituse okusobozesa amazzi okusigala ku kikolo.
Okwongerako, tekako urea ku bikolo ku wiiki 9 nga omaze okusimba era ku wiiki 16-17 nga oaamze okusimba, okungule kasooli. Ekisembayo Eminwe ekikaze gigeme nga tonamutereka mu kifo ekiyitamu empewo nga kiri 1.4 m okuva ku ttaka.