Okufukirira ebirime okw’entonyeze kugenda mumaaso nga kukiriza amakungula g’obulimi okuyita mu mwaaka gwona.
Tandika nga oyunga akasiba kunkomekerero y’olupiira era ojeko akasaanikira okutuusa okupika amazzi mulupiira bwekuggwa. Kozesa waya okunyweeza empiira okuyita mumpuku era osaleko okuja kw’amazzi era olupiira olukulu lwa yiinki 3 okumpi nemubukyiika bwempuku.
Entegeka y’okufukirira
Nga otegeka okufukirira kw’amatondo, yunga akasiba k’amasanyalaze diguli 90 ku lupiira olukulu, gattako empiira ezisigade ku kasiba k’amasanyalaze era okasale kayimpawe okusobola okukola ekituufu. Genda mumaaso nga oyunda akasengeja ku mpiira.
Mungeri y’emu nga weyambisa akuuma akakuba obutuli, kola obutuli kulupiira olukulu kumabanga gew’etaaga era sindika akasiba akayitibwa drip valve mubuli kituli nga okakasa nti zombi langi eya bululu n’enzirugavu zisibidwa mukiyitibwa valve era nga okola kino, oyina okuwulira eddoboozi erikuba nga otadde mulupiira. Nyweeza langi enzirugavu kulupiira olukulu era ojeyo obukozesebwa mukusiba empiira obw’abuli layini era obukw’ase kukiyitibwa drip tape valve.
Mukugattako, nga okakasa nti drip mita zitunudde wagulu, luze mumufuleje mu merezo, sika drip tape osale obuwanvu era oddemu enkola eyo kubuli lupiira. Yunga amazzi gyegava ku valve esengeja era opike amazzi okusobola kujamu obukyaafu byonna. Kino kikolebwa nga oziba obutuli bwonna n’opika amazzi okuyita mulupiira olukulu.
Sibako akasaanikira ku power lock flush valve okuva kumutendera 1era osumulure akatuli kamu ku kamu okutuusa nga amazzi gaufulumye mu drip tape awo siba valve era oddemu enkola eno okutuusa nga empiira zonna zivaamu amazzi.
Ekisembayo gattako ekiyitibwa drip tape flush valve kubuli nkomerero yabuli lipiira.