Emere etwaala omutemwa ogusinga obunene kumbalirira mubulunzi bw’enkoko, naye kino kisobola okw’ewalibwa okuyita mukw’ekolera emere eyiyo.
Waliwo ensemgeka 4 mubirungo ebiri mu mere era bino mulimu ekirungo ky’amaanyi, ekizimba omubiri, vitamins minerals wamu ne premixes. Okukola kilo 100 ez’emere y’enkoko, wetaaga kilo 40 ez’akasooli, kilo 10 ez’engano ekika kya bran, kilo 20 ez’engano ekika kya pollard, kilo 18 eza soyabean meal, kilo 9 ez’ebyenyanja, kilo 2 eza lime stone, kilo 0.5 ez’omunnyo, kilo 0.5 eza methionine, kilo 0.2 eza lysine wamu ne kilo 0.003 eza coccidiostat. Kakasa nti soya akozesedwa mu mere asiikiddwaako.
Emere y’enkoko ezikuze nez’amagi
Okusobola okukola kilo 100 eze mere ekuza enkoko, wetaaga kilo 35 ez’akasooli, kilo 1o eza wheat bran, kilo 28 eza wheat pollard, kilo 15 eza soyabean, kilo 7 eza fish meal, kilo 4 eza lime stone, kilo 0.5 ez’omunnyo, kilo 0.3 eza premixes, kilo 0.03 eza coccidiostat.
Mukilo 100 ez’emere y’enkoko ezibiika, wetaaga kilo 35 ez’akasooli, kilo 4 eza wheat bran, kilo 35 eza wherat pollard, kilo 9 eza soyabean meal, kilo 8 eza fish meaal, kilo 6 eza lime stone, kilo 0.6 ez’omunnyo, kilo 0.02 eza methionine, kilo 0.5 eza di calcium phosphate wamu ne kilo 2 eza premixes.
Emere y’obukoko obuto eb’eramu ebitundutundu 19 ku 20% eby’ekirungo ekizimba omubiri era ku nkoko ennansi, etekeedwa okuw’ebwa okuviiraddala nga obukoko bwalunnaku lumu okutuusa nga bwa wiiki 8. Emere y’enkoko ezikuza eb’eramu ebitundutundu 16 ku 17% eby’ekirungo ekizimba omubiri era nga ew’ebwa okuva ku myeezi 9 okutuusa nga enkoko zitandise okubiika so nga ate emere y’enkoko z’amagi erimu ebitundutundu 15 ku 17% eby’ekirungo ekizimba omubiri era nga esaanye okuw’ebwa enkoko nga zitandise okubiika.