Abanatera okutandika okulunda ebinyonyi bangi ebiseera ebisinga babuzaabuzibwa oba kukulunda enkoko zennyama oba ez’amagi naye waliwo ebitonotono by’olina okusooka okumanya kubuli emu.
Ez’amagi zitera okubiika okusinga kuzennyama. Ezennyama nazo zitandika okubiika amagi singa okuzikuumira ku faamu okumala ekiseera kiwanvu naye ate kino tekiza magoba naye ate kisobola okufuuka ekizza amagoba singa ez’ennyama ozikuuma okubeeranga zenkulu mu kisibo.
Enjawulo mubulunzi
Enkoko zennyama zizitowa okusinga ku z’amagi naye singa ez’amagi zikka obuzito bwa kilo 1.5 awo ziba tezija kubiika magi kubanga emere yonna eja kuba nga ekozesebwa kubezaawo mubiri wabula sikubiika magi.
Ezennyama zirya nnyo era emere y’azo yabeeyi okusinga kwezo ez’amagi. Kino kiri bwekiti kubanga emere y’azo erimu ekiriisa ekizimba omubiri ate nga ebirungo ebivaamu ekiriisa kino bya beeyi.
Enjawulo muby’ensimbi
Okutandika faamu y’enkoko zennyama kyangu okusinga kuye z’amagi kubanga obukugu obw’etagibwa n’ebyo ebitekebwaamu bitono kwebyo eby’etagibwa munkoko z’amagi.
Enkoko zennyama siwa sente mubwangu. Nekubinyoyi 100 osobola okufuna amagoba naye ate wetaaga enkoko z’amagi ezitakka wansi wa 500 okusobola okufuna amagoba.
Okusobola okwebulula okuva mukufiiriribwa kyangu mu nkoko zennyama ekitali ku nkoko z’amagi kubanga ezennyama zikula mangu. Okufiirizibwa okukoledwa mululunda olumu kusobola okugibwaawo mululunda oluddako.
Enkoko z’amagi nyangu zakufunira katale era zifuna nnyo okusinga kwezo ezennyama. Kino kiri kityo kubanga ez’amagi, osobola okusigala mukatale nga otunda amagi ate era n’otunda nenkoko zenyini ezibade zibiika nga okubiika kuweddeko naye ate ezennyama, olunnaku oluyita nga ziri ku faamu nga zimaze okuweza obuzito bw’okuzitundirako kitegeezakulya ku magoba.