Enkola y’okulimira mu mazzi egatta ebika by’okulima n’okulunda bibiri omuli; okulunda eby’ennyanja n’okulima enva endirwa. Naye mu nkola y’okulimira mu mazzi tugatta obulunzi bw’ebyennyanja n’okulimira mu mazzi agatabiddwamu ebiriisa.
Mu nkola eno ey’okulima tulinamu enkola eyitibwa vertical tower ng’olima obutungulu bw’ebikoola, kales, broccoli ne cauliflower. Ku ludda olulala, tulina ensaniya munaana ez’ebika bya kamulaali owa langi, ebimyufu bina n’ebyakyenvu bina. Mu bidiba by’eby’ennyanja bino tulundiramu engege ne ssemutundu
Engeri okulimira mu mazzi gye kukolebwamu
Amazzi agava mu bidiba bya mazzi gawa ebimera ebiriisa nolw’ensonga eyo ebimera bibeerawo ku lw’ebirungo okuva mu by’ennyanja.
Ekiriisa kya ammonia ekiba kiyitiridde okuva mu bubi bw’eky’ennyanja, emmere esuukiridde mu mazzi ekunganyizibwa ne neteekebwa mu nsaniya era wano ekimera kifuna ekigimusa n’ebiriisa byonna era amazzi bwegaba gaddawo mu kidiba ky’eby’ennyanja gaba mayonjo kuba emirandira gy’ebimera gigateekamu omukka omulamya.
Emigaso
Okutereka amazzi agonoonebwa mu bulunzi bw’eby’ennyanja; olina okukyusa amazzi ekitegeeza nti amaanyi getaagisa okukibeezaawo ekitali mu kulimira mu mazzi.
Ekifo awava ensimbi okuva mu by’ennyanja n’ebirime. Okulimira mu mazzi kuggumira nnyo ekipimo ky’olunnyo. Ensaasaanya ku biriisa; kya layisi nnyo okulimira mu mazzi okusinga okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa.
Okufundikira
Emyezi gibadde ena egy’okukola ennyo mu kuliisa obulungi, mu ndabirira y’endwadde n’ebiwuka ebyonoona ebimera. Okuva okusimbuliza, okuyita mu mutendera gw’okukula okutuuka ku gw’okumulisa, okuteekako ebibala paka olwaleero mu kukungula ebibala byaffe ebisooka. Singa enkola y’okulimira mu mazzi eba ekoleddwa bulungi esobola okuyingiza nnyo ensimbi.