Obwetavu bw’ebiva mu nkoko bweyongera nekireeta obwetavu okufuna abalunzi abawera okusiga mu mulimu guno.
Nga tonatandika kwetaba mu kulunda nkoko, waliwo ebisokerwako balunzi byebetaaga okumanya okusobola okugufunamu. Beera nokumanya okutuffu ku sente ezetagiisa okutandika wamu n’okudukanya omulimu. Kino kikulu kubanga tewetaaga kutandika kyotamalirize. Sente zewetaaga zikola mu kugula emere, eddagala, okugemesa era nga bubufunze wetaaga doola 304 ku buli kinyonyi.
Ebirina okutunulirwa
Ekifo omuli faamu kikulu. Teeka faamu mu kifo awali amazzi amayonjo nga tegagwawo era nga tewali bubi. Ekifo nga kitukikako era nga ebinyonyi tebigenda kufuuka kizibu mu kitundu oba ekitundu okufuuka ekizibu eri ebinyonyi.
Awagibwa ebikozesebwa awalungi kikulu nga okulunda kwenyini. Kakasa nti olina wojja obukoko obw’omutindo, eddagala n’okugema.