Okukaza ekintu nga okyanika mu musana nkola nkadde ey’okukaza omuceere, era nga omusana gwaka ku muceere, emisinde amazzi gye gafuumuukirako okuva mu muceere tekyetaaga kuteekamu nnyo ate tekikosa butonde.
Obuuma obupima ebbugumu n’obunnyogovu wamu n’obwo obupima obungi bw’amazzi mu kintu busobola okukozesebwa okupima ebbugumu wamu n’obungi bw’amazzi obuli mu muceere. Era okukaza ekintu nga okyanika mu musana kirimu emiganyulo egy’enjawulo okugeza; kya layisi, tekikosa byetooloddewo olw’okukozesa enjuba nga kwe kuva ebbugumu ate tekyonoona butonde.
Enkaza/okukaza
Saasaanya omuceere ku kintu ky’ogwaniseeko ekiri ku buwanvu bwa ssentimmita wakati w’ebbiri n’ennya okuva ku ttaka, mu bifo ebiyitamu obulungi empewo, nga bw’okyusakyusa omuceere nga ogutabulamu gusobole okukala amangu, wabula, okulondoola ebbugumu n’obunnyogovu wamu n’obungi bw’oluzzizzi mu mpeke z’omuceere kulina okukolebwa wamu n’okubikka omuceere singa ebbugumu liba lisusse ekipimo kya ddiguli makumi ataano okwewala okwokya ennyo.
Okwongereza ku ekyo, omuceere gwanule bw’olaba nga enkuba ejja, era n’obudde bwe buba buzibye guleme kuweweera wamu n’okumenyeka kw’ensigo z’omuceere. Kino kiddirirwa okukendeeza ku mazzi agali mu lukuta oluli ku muceere gatuuke ku kipimo kya bitundu kkumi na munaana ku buli kikumi okwanguyiza omuceere okuterekebwa ebbanga lya wiiki bbiri nga tonnaba kukozesa nkola ndala ey’okukaza okwongera okukendeeza ku bungi bw’oluzzizzi obuli mu muceere.
Ekisembayo, bulijjo laba nga ogoba ensolo mu muceere era weewale okugwanika ku nguudo ez’olukale anti kino kiyinza okuleeta obujama mu muceere.
Ebunafu bw’okukaza nga oyanika mu musana
Okwanika mu musana kulwisa omuceere okukala engeri gye kiri nti si kyangu kukaza mu biseera by’enkuba oba ekiro ekireetera omuceere okuyitamu empewo wamu n’okukukula. Okwongerezaako, kyetaaga abakozi n’amaanyi mangi era kizibu okupima obungi bw’ebbugumu n’obunnyogovu anti n’ebbugumu erisusse likendeeza omutindo gw’omuceere.
Engeri z’okwanikamu omuceere mu musana
Okwanika mu kyererezi; kino kikolebwa nga oteeka omuceere wansi ogumaze okusalibwa,oba ku butandaalo, wabula kino kikugirwa nnyo engeri gye kiri nti ekiro omuceere guyinza okubissiwala, empewo eba tetambula bulungi wamu n’okukala kubeera kutono ekireetera omuceere okuba ogw’omutindo ogwa wansi.
Okukaza obulimba; kino kikolebwa nga oteeka obulimba bw’omuceere obusibiddwa awamu ku mikeeka, ku bubibiro bwokunguudo oba bintu ebyanikibwako. Obunafu obuli mu kino buli nti obulimba bw’omuceere bukala mpola.
Okwanika ku butimba oba emikeeka; kino kikola ku balimi abalima ebitonotono oba ebitali bingi nnyo. Kikolebwa nga oteeka omuceere ku butimba n’emikeeka, wabula, ekibi ekiri ku nkola eno ky’ekya ssente z’okugula obutimba n’emikeeka, n’okwonoonebwa nga kiva ku kugwanika wansi.
Okwanika ku bubebenu bwokunguudo; kino kikola ku balimi abalima ebingiko wamu n’abo abalima ebingi ddala nga oteeka omuceere ku bubebenu. Wabula, kyetaaga abakozi bangiko era kirimu nnyo omuceere okwonoonebwa amayinja n’enfuufu.