»okuziyiza n’okutangira obuvuvuumira mu mizinga gy’enjuki «
Ekivuvuumira ekibeera mu mizinga kisobola okumalako emirembe naddala mu mizinga gy’enjuki era nga kyetaaga okutangira oba okuziyizibwa.
Ebivuvuumira by’omumizinga bisobola okuvaako obulabe naddala mu muzinga okugeza bisobola okukuba obutuli mu kifo enjguki mwezikolera omubisi n’ezirya omubisi ogwaterekeddwa, amazzi agavamu omubisi ne ssekizaalizi (pollen). Ebivuvuumira by’omukizinga webiyitirira, bisobola okuviraako enjuki okusenguka oba okuva mu kizinga.
Ebikolebwa okusobola okuziyiza
Okukozesa obuwero obutalimu buwoowo. Buno bukwata obuvuvuumira obutono.
Obubaawo obutangira ebivuvuumira okuyingira. Buno butekebwa wakati mu bibaawo era nebujjuzibwa ne buto oba ettaka eririmu ebirungo(diatomaceous earth). Enjuki bwezigoba ebivuvuumira , zikomekereza zigenze w’ebyo ebibitangira oba okufa.
Osobola okukozesa emitego egikwata enjuki egitegwa okusobola okusikiriza ebivuvuumira naye tegisikiriza bisokomi bya kivuvuumira kuva mu muzinga okudda mu ttaka gye bifuukira bi namatimbo.
Okutangira ebivuvuumira by’omu muzinga
Olubaawo olukozesebwa mu kutangira ebivuvuumira bulina akawaatwa(slit) wansi w’omuzinga akaziyiza ebivuvuumira okuyingira mu muzinga era singa biyingira, olubaawo luba n’ebituli waggulu ebivuvuumira webigwira n’ebikomekerera wansi w’olubaawo.
Wansi w’olubaawo wabaayo olusaniya okuli ettaka(diatomaceous earth) era nga lino litta ebivuvuumira by’omu mizinga.