Okwaluza obukoko obw’okuggyamu ensimbi nga weyambisa obukodyo obwangu.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=UFyhzdCMj78

Ebbanga: 

10:09:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agribusiness Insider
Obukoko bwa kwegendereza nnyo n'olwekyo kikulu nnyo okuteeka mu nkola enkola z'okulabirira ennungi ku faamu okusobola okukendeeza ku kufa kw'obukoko. Obukoko obuto webujja, buwa amafuta okusobola okwanguya okukuba emmere mu lubuto. Okwongerezaako, ebifo awava ebbugumu birina okuteekebwako mu ssaawa mukaaga nga tonaba kuleeta bukoko, ebiseera ebisinga ,ekintu ekikozesebwa okuwa ebbugumu mu bukoko ekya gas kye kisinga okukuozesebwa kuba kigaba ebbugumu lingi n'okuligera amangu.

Eby’okuteeka mu nkola.

Tandiika ng’olonda olulyo olw’omutindo olusookerwako  olw’obukoko okuva mu bakittunzi abamanyikiddwa era okakase nti bugemebwa bulungi mu jjalulizo okuziyiza endwadde zinamutta. Okwongerezaako , kebera obukoko obuto olabe oba tebulina bukosefu era oteekemu ekifo awava ebbugumu nga tonaleeta bukoko. Era, obukoko obuto buwe amazzi n’emmere etandiikibwako, kino kikendeeza ku kkabiriro eriva ku kutambuzibwa kw’enkoko. Ekirala kyusa amazzi buli lunaku, yoza ebinywero bulijjo n’okuziwa emmere eri ku mutindo ku buli mutendera gw’okukula.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:23londa olulyo olusookerwako olw'obukoko oluli ku mutindo okuva eri kitunzi akakasiddwa
02:2402:46Kakasa nti obukoko bugemeddwa bulungi ku jjalulizo okusobola okutangira endwadde zinamutta.
02:4703:22Kebera olabe oba obukoko bukosefu era oteekemu ekifo awava ebbugumu nga tonaleeta bukoko.
03:2304:50Ekintu ekikozesebwa okuleeta ebbugumu ekya gas kye kisinga okweyambisibwa kuba kigamba ebbugumu lingi n'okuligera amangu.
04:5105:56Obukoko obuto buwe amazzi n'emmere etandikibwako okusobola okuziyiza ekkabiriro.
05:5706:21Era kakasa nti obukoko obuwa amafuta okusobola okubwanguyiza mu kukuba emmere
06:2208:03Kyusa amazzi buli lunaku, bulijjo yoza ebinywero era obuwe emmere eri ku mutindo ku buli mutendera.
08:0410:09Kakasa nti weyambisa enkola zonna eziyitibwamu okusobola okutangira obulwadde ku faamu yo.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *