Enkozesa y’eddagala eritta omuddo ogwonoona ebirime
Wobeera okozesa eddagala eritta omuddo ogwonoona ebirime,olina okufuuyira nga akibuyaga si wammaanyi era nga teri bubonero bwa nkuba era kakasa nti akafuuyira n’awayita eddagala bifiirwako bulungi okusobola okukola omulimu omulungi. Abantu abatalina bya kwekumisa ebyobwanannyini balina okuba ewala nga bafuuyira era eddagala lirina okufuuyirwa omuntu omutendeke.
Mungeri yemu abaana nabo balina okuba ewala neddagala linno era n’obuccupa awamu n’obusaketi mwelibadde.Tolina kulya ,kunnywa oba kufuuwa sigala woba okwasagannya okufuuyira eddaggala.Obuccupa obuweddemu eddagala buteeke awakunganyizibwa kasasiro ow’obulabe oba wekitaba ekyo akakebe akabadde mu eddagala kayumunguze emirundi essattu kubamu katuli muntobo eraa okaziike mu ttaka wansi.
Mungeri yemu,tokozesa bukebe bubaddemu ddagala kukola mirimu gya wakaa,akafuuyira tokoleza mu kagga akali okumpi ng’omaliriza okufuuyira era afuuyira alina okukyusa n’okwoza engoye zabaddemu nga tanaba kulya era amaaso aganaabe ng’okozesa amazzi wakiri okumala eddakiika 10 wegaba gageenze mu eddagala.
Tonnywa oil w’ebinnazi oba amatta w’ofuna kaamunguluze ng’omaze okufuuyira era genda mu ddwaaliro ofune obujanjabi.Wabula,enkozesa y’eddagala esinzira ku kikka kyalyo,omutendera kwerifuuyirwako n’omugaso,eddagala lifuuyirwa ng’okusiimba tekunaba,erifuuyirwa kku ttaka ng’okusimba kuwedde n’erifuuyirwa ng’omuddo gumazze okukula mu birime .
Eddagala eritasosola birime namuddo lifuuyire ku muddo gwokka era ebikoola by’ebirime bikuume okuvva eri eddagala.Buli lw’okozesa eddagala erifuuyirwa ng’omuddo gumazze okummera teeka ekiziyiza amazzi okumansuka awo eddagala werifulumira ng’ofuuyira era mu kumaliriza,kozesa emikono okuggya omuddo mu muwogo atanaweza wiiki 8.
}: