Ebivavava bya mugaso nnyo mu ndya e’yobulamu wabula eniniro zabyo zirina okutekebwa mu bifo awatuuka omusana nga wali wala okuva ku miti eminene wamu n’ensijko okukendeza okulwanira ebiriisa.
Bwoba otegeka enimiro y’ebivavava tokozesa bikumbi bivugula kubanga bisalasala omuddo ogumala negumerukamu omuddo omulala nga awo guba muzibu okugyamu. Ettaka omulimilwa enva zino lirina okuba nga liri fuuti 1-2 okukka nolwekyo gyokoma okulimiramu ebivavava gyerikoma okukka era enimiro neba y’amutindo.
Emitendera
Sima omuddo n’ekitiyo , okunkumule ettaka nga bwogyamu omuddo.
Omuddo gwawule mu ttaka nga okozesa ekikumbi eky’amanyo(rake).
Zimba ku nkomerero y’obulimiro nga okozesa amatofali okwawula enimiro ku muddo n’emirandira.
Wanikako enmiro z’omunsawo amazzi galeme kukulukutira mu nimiro
Tekamu ettaka elyokungulu egimu fuuti 1 eri abo abalima mu ngeri y’obutonde.
Sasanya bulungi era otabule ekigumusa, bikka era okole nakavundira mu ttaka ettaka lyongere okukola obugimu.