»Okufuna mumuceere ogufumbiddwako«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/cashing-parboiled-rice

Ebbanga: 

00:12:38

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AfricaRice, Agro-Insight, Countrywise Communication, INRAB, SG2000, Songhai
“Newankubade nga omuceere gulimu ekiriisa kingi, omutindo mungi gugwa mukusunsula. Ekiviramu muceere gwa mutindo mubi kukatale, awo abaguzi nebetanira omuceere oguyingizibwa mu ggwanga. Mukatambi kano osobola okuyiga okukola omuceere ogufumbiddwako, engeri y‘okutumbulamu omutindo gw‘omuceerethe nga omuceere oguliko obukuta gutekebwa mumazzi agabuguma n‘omuka ogwookya. Waliyo ensonga nyingi eziretera omuceere okufumbibwaako. Akatale k‘omuceere oguli ku mutindo kakula. Abafumbi bemere n‘ebannanyini bebirabo byemere batandika okukozesa omuceere ogufumbiddwako kubanga guba muyonjo atenga mwangu kufumba. Ekisinga obukulu, Omuceere ogufumbiddwako gulimu ekiriisa ky‘amanyi okusinga ogutafumbiddwako. Akatambi kano kitundutundu kya Rice Advice DVD.“

Omuceere ogufumbiddwako guyina emigaso mingi. Muyonjo, mwangu kufumba, gwakiriisa era era tegumenyeka. Mukweyongerayo mwangu okukuba n‘okutundibwa kumiwendo emirungi.

Omuceere ogufumbiddwako gunyikibwa mumazzi agabuguma era negufumbibwaako.Naye omuceere ogufumbiddwako teguyina kutokota, kubanga awo gutandika okufumbira ddala.

Emitendera gy‘okukola omuceere ogufumbiddwako

Mukufumba omuceere ogufumbiddwako wetaaga esigiri, esefuliya, entamu efumbibwaamu, amazzi amayonjo, enku, akalobo, ekibo, ekijiiko wamu n‘omuceere oguliko akakuta.

Jamu amayinja gona, omuceere omuto nebikyaafu ebirala. Awo teeka omuceere mukalobo era okajuze amazzi aganyogoga. Yoza era otabule omuceere era ojemu ebitengeja. Tululu amazzi era odemu ogwooze, okutuusa ebitengeja byona nga obijeeko. Kati ddamu ogyooze, naye kumulundi guno kitundu ky‘amazzi. Jamu omuceere olyo musigalemu amayinja n‘obukyafu.

Teeka omuceere mu sefuliya erimu amazzi aganyogoga era okume omuliro. Beera nga otabulamu. Amazzi bwegayokya ennyo okukw‘atibwamu ojako esefuliya kumuliro. Leka omuceere guwole okuyita mukiro. Kulunaku oluddako osobola okujako ebitengeja. Teeka omuceere ogunyikiddwa mukibo.

Kati genda mumaaso nga okozesa entamu efumba. Teeka entamu ku kyooto era ogatemu amazzi. Olwo teeka entamu efumba ku sefuliya. Tokiriza ntamu efumba kusemberera mazzi, kubanga awo omuceere guyinza okutandika okutokota. Teeka omuceere muntamu efumba. Kati lekawo ebanga omuceere wegunaazimbira. Kozesa akaveera era okateeke kukisaanikira. Ziba ebanga wakati we sefuriwamu ne ntamu efumba n‘akagoye akayonjo, ebugumu lisigale munda. Oluvanyuma lwe ddakiika asatu omuceere guba guyide era nga ebikuta ebisinga biba by‘eyasiza.

Kaza omuceere mukifo ekiyonjo nga ettundubaali. Togukaliza mumusana kumala banga dene nnyoe era guteeke mukisikirize oluvanyuma lwakaseera. Oyina okukyuusakyuusa omuceere buli kiseera.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:30Intro
01:3101:56Omuceere ogufumbiddwako gunyikibwa mumazzi agabuguma era negufumbibwaak.
01:5703:25Omuceere ogufumbiddwako muyonjo, mwangu kufumba, gwakiriisa era era tegumenyeka. Mukweyongerayo mwangu okukuba n‘okutundibwa kumiwendo emirungi.
03:2603:55Mukufumba omuceere ogufumbiddwako wetaaga esigiri, esefuliya, entamu efumbibwaamu, amazzi amayonjo, enku, akalobo, ekibo, ekijiiko wamu n‘omuceere oguliko akakuta.
00:0003:56Jamu amayinja gona, omuceere omuto wamu n‘obukyafu obulala.
04:1404:25Awo teeka omuceere mukalobo okajuze amazzi.
04:2604:39Yoza era otabule omuceere era ojemu ebitengeja.
04:4004:55Tulula amazzi era oddemu oyoze nate, okutuusa ebitengeja byona lwebigwaamu.
04:5605:18Kati tulula nate, naye kumulundi guno kitundu ky‘amazzi. jamu omuceere musigalemu amayinja goka n‘obukyaafu obulala.
05:1905:31Teeka omuceere mu sefuliya erimu amazzi aganyogoga oteeke ku muliro.
05:3205:06Sigala nga otabula.
05:3706:18Amazzi bwegayokya ennyo okukw‘atibwamu ojako esefuliya kumuliro.
06:1706:28Leka omuceere guwole.
06:2906:40Kulunaku oluddako osobola okujako ebitengeja. Teeka omuceere ogunyikiddwa mukibo.
06:4106:48Kati genda mumaaso nga okozesa entamu efumba.
06:4907:02Teeka entamu ku kyooto era ogatemu amazzi. Olwo teeka entamu efumba ku sefuliya.
07:0307:29Tokiriza ntamu efumba kusemberera mazzi, kubanga awo omuceere guyinza okutandika okutokota.
07:3007:45Teeka omuceere muntamu efumba.
07:4608:26Kozesa akaveera era okateeke kukisaanikira. Ziba ebanga wakati we sefuriwamu ne ntamu efumba n‘akagoye akayonjo, ebugumu lisigale munda.
08:2709:17. Oluvanyuma lwe ddakiika asatu omuceere guba guyide era nga ebikuta ebisinga biba by‘eyasiza.
09:1809:50Togukaliza mumusana kumala banga dene nnyoe era guteeke mukisikirize oluvanyuma lwakaseera.
09:5111:15Oyina okukyuusakyuusa omuceere buli kiseera.
11:1612:11Mubufunze
12:1212:38Credits

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *