Omuceere ogufumbiddwako guyina emigaso mingi. Muyonjo, mwangu kufumba, gwakiriisa era era tegumenyeka. Mukweyongerayo mwangu okukuba n‘okutundibwa kumiwendo emirungi.
Omuceere ogufumbiddwako gunyikibwa mumazzi agabuguma era negufumbibwaako.Naye omuceere ogufumbiddwako teguyina kutokota, kubanga awo gutandika okufumbira ddala.
Emitendera gy‘okukola omuceere ogufumbiddwako
Mukufumba omuceere ogufumbiddwako wetaaga esigiri, esefuliya, entamu efumbibwaamu, amazzi amayonjo, enku, akalobo, ekibo, ekijiiko wamu n‘omuceere oguliko akakuta.
Jamu amayinja gona, omuceere omuto nebikyaafu ebirala. Awo teeka omuceere mukalobo era okajuze amazzi aganyogoga. Yoza era otabule omuceere era ojemu ebitengeja. Tululu amazzi era odemu ogwooze, okutuusa ebitengeja byona nga obijeeko. Kati ddamu ogyooze, naye kumulundi guno kitundu ky‘amazzi. Jamu omuceere olyo musigalemu amayinja n‘obukyafu.
Teeka omuceere mu sefuliya erimu amazzi aganyogoga era okume omuliro. Beera nga otabulamu. Amazzi bwegayokya ennyo okukw‘atibwamu ojako esefuliya kumuliro. Leka omuceere guwole okuyita mukiro. Kulunaku oluddako osobola okujako ebitengeja. Teeka omuceere ogunyikiddwa mukibo.
Kati genda mumaaso nga okozesa entamu efumba. Teeka entamu ku kyooto era ogatemu amazzi. Olwo teeka entamu efumba ku sefuliya. Tokiriza ntamu efumba kusemberera mazzi, kubanga awo omuceere guyinza okutandika okutokota. Teeka omuceere muntamu efumba. Kati lekawo ebanga omuceere wegunaazimbira. Kozesa akaveera era okateeke kukisaanikira. Ziba ebanga wakati we sefuriwamu ne ntamu efumba n‘akagoye akayonjo, ebugumu lisigale munda. Oluvanyuma lwe ddakiika asatu omuceere guba guyide era nga ebikuta ebisinga biba by‘eyasiza.
Kaza omuceere mukifo ekiyonjo nga ettundubaali. Togukaliza mumusana kumala banga dene nnyoe era guteeke mukisikirize oluvanyuma lwakaseera. Oyina okukyuusakyuusa omuceere buli kiseera.