Nematodes bwebusiringanyi obwangu okumanyira kukonzibya emirandira, okufufunyala mu nva endiirwa era tebuttibwa ddagala liziyiza bulwadde kwosa eddagala eritta obuwuka kubanga bubeera muttaka wamu n‘emirandira gyebirime gyebumalirako obulamu bwabwo bwonna.
Obulamu bwa nematodes
Amagi gabikibwa ebweru w‘obusongezo bw‘emirandira obusiringanyi nebukosa emirandira nga bugifumitamu emimwa gyabwo emisongovu olwo nebikendeeza amazzi n‘ebirisa ebyalisikiddwa ebimera.
Engeri y‘okuziyizaamu
Simba endokwa ezigumira endwadde okuva mubatunzi abakakasibwa era abesigika. Jjamu emirandira gyonna mu bbeedi y‘ensigo ogyookye. Ssaa obussa n‘ennakavundira osobole okuzza ettaka obujja. N‘ekirala yonoona ebifo byonna ebivaamu nematodes eri omusana guzookye. Jjamu omuddo era okuule ebimera ebirwadde okukendeeza ebifo nematodes gyezigya emmere. Kakasa nti olambula ennimiro buli kadde era osanyeewo ebirime ebiradde nga bweweekakasa okulima ng‘okyusakyusa ebirime nga bwotyo osimba ebirime ebiyinza okugumira obulwadde buno kino kikomya obulamu bwobulwadde.
Bwoba ova munnimiro emu okudda mundala yonja byokozesa, naaba ebigere bulungi n‘ekisembayo kendeeza ku mukoka ng‘okola ebikata era osimbe ebirime ebisikiriza obuwuka kikendeeze kunsasaana kwendwadde eno.