Obuwuka obuleeta amabala amaddugavu buleetera ebimera okusiwuka era nga mu mwaka kisaasanyizibwa mu buwanvu bwa mita 10-200.
Ekirwadde kino kirina obubonero obwefaananyirizako n‘obulwadde obuleetera ebikoola okubabuka obuyitibwa anthracnose. Obuwuka buno busaasanyizibwa okuva mu bikozesebwa mu kusimba nga birina obuwuka, emmotoka ezitambuuza ebinyogoga ne mu biseera by‘omuyaga bikosa amakungula noolwekyo kyetaagisa abalimi okukwatira awamu. Obubonero bw‘obuwuka obuleeta amabala mulimu:okukulubuka kwa kyenvu okwetoloola amabala amaddugavu ku kikoola, amabala amaddugavu ku bibala n‘amatabi agakoseddwa.
Engeri y‘okutangira obuwuka obuleeta amabala amaddugavu nga teweyambisiza ddagala erifuyira ebirime.
Lambula ennimiro y‘ebibala buli kiseera, ggyamu ebikozesebwa ebirina obuwuka era obyokye okukendeeza ku mikisa gy‘okulumbibwa. Ekirala kebeera emiti egikoseddwa, salira era osanyewo ebintu byonna ebikozesebwa era tokolera munnimiro ya bibala nga enkuba etonya n‘amatabi wegakwataganira nga wawewevu okuziyiza okusaasana kw‘obulwadde. Fuba okulaba ng‘ofuyira ebikozesebwa oluvanyuma lw‘okubikozesa mu nnimiro ezirumbuddwa obuwuka n‘omwenge omuka oba spirit.
Engeri y‘okutangira obuwuka obuleeta amabala amaddugavu nga weyambisa eddagala erifuyira ebirime.
Fuyira obuwuka buno ngokozesa eddagala ly‘ebirime ery‘okungulu kuba lisaasaana mu bitundu eby‘enjawulo era kuuma ebitundu by‘ofuyidde butiribiri. Soma bulungi ebiragiro ebiri ku ddagala erifuyira era webuuze ku balimi bano engeri y‘okutabulamu obulungi eddagala. Wabula kyusakyusa eddagala okuziyiza endwadde.