»Enzaala n‘enkula y‘akasaanyi akoonoona ebirime«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=eZxVouWM-t4

Ebbanga: 

00:01:32

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

CABI Invasives
»Akasaanyi kitonde kikulu ekirumbaganyi ekyonoona ebirime ekirina omwoyo gw‘okulya obutakkuta; obusobozi bwako okusaasaana n‘okuzaala amangu kamu ku nsonga lwaki kitonde ekirungi mu kukola obulumbaganyi. «

Akasaanyi kitonde kya bulabe ekyonoona ebirime era kyonoona nnyo ku mutendera gw‘okubeera ekisaanyi mu mwetooloolo gwonna ogw‘okuzaala n‘okukula.

Enzaala n‘enkula yaako erimu amagi, emitendera gy‘okukula mukaaga egy‘ekisaanyi ekirya ennyo, nnamatimbo n‘ekiwojjolo.

Kino kitandika nga amagi kikumi ku bibiri gabiikiddwa wansi ku bikoola kumpi n‘akakonda ekikoola we kigattira ku nduli.

Oluvannyuma lw‘okwalula, obusaanyi obuto bulya bikoola.

Ebisaanyi byagala okulya ebikoola mu bimera ebito n‘ebikoola ebiri okumpi n‘obubooya mu bimera ebikulu.

Biriira ddala okuyita mu mbuga y‘ekikoola okutuuka ku munwe gwa kasooli okusobola okulya empeke za kasooli ezikula, ekintu ekitta enkula y‘ebimera mu bimera ebito.

Oluvannyuma lw‘ennaku kkumi na nnya, ebisaanyi bigwa wansi ne bisima mu ttaka okukka ssentimmita nga bbiri ku ssatu okufuuka nnamatimbo.

Nga wayise ennaku munaana ku mwenda, ebiwojjolo ebikulu bivaayo mu ttaka ne bitandika buto omwetooloolo gw‘enzaala n‘enkula.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:10omwetooloolo gw‘enzaala n‘enkula y‘akasaanyi gulimu amagi, emitendera gy‘okukula mukaaga egy‘ekisaanyi, nnamatimbo n‘ekikulidde ddala.
00:1100:20omwetooloolo gutandika nga amagi kikumi ku bibiri gabiikidwa era ne gaalula mu lunaku lumu ku ssatu.
00:2100:27oluvannyuma lw‘okwalula, ebisaanyi ebito birya bikoola.
00:2800:35Ebisaanyi birya bikoola mu birime ebito n‘ebikoola okuliraana obubooya mu birime ebikulu.
00:3600:58Biriira ddala ekigenze ewala ppaka ku kulya empeke za kasooli ezikula.
00:5901:16Oluvannyuma lw‘ennaku kkumi na nnya ebisaanyi bigwa wansi ne bisima mu ttaka obuwanvu bwa sentimmita bbiri ku ssatu okufuuka nnamatimbo.
01:1701:25Nga wayise ennaku munaana ku mwenda, ebiwojjolo ebikulu bivaayo ne bitandika buto okuzaala n‘okukula.
01:2601:32Mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *