Akasaanyi kitonde kya bulabe ekyonoona ebirime era kyonoona nnyo ku mutendera gw‘okubeera ekisaanyi mu mwetooloolo gwonna ogw‘okuzaala n‘okukula.
Enzaala n‘enkula yaako erimu amagi, emitendera gy‘okukula mukaaga egy‘ekisaanyi ekirya ennyo, nnamatimbo n‘ekiwojjolo.
Kino kitandika nga amagi kikumi ku bibiri gabiikiddwa wansi ku bikoola kumpi n‘akakonda ekikoola we kigattira ku nduli.
Oluvannyuma lw‘okwalula, obusaanyi obuto bulya bikoola.
Ebisaanyi byagala okulya ebikoola mu bimera ebito n‘ebikoola ebiri okumpi n‘obubooya mu bimera ebikulu.
Biriira ddala okuyita mu mbuga y‘ekikoola okutuuka ku munwe gwa kasooli okusobola okulya empeke za kasooli ezikula, ekintu ekitta enkula y‘ebimera mu bimera ebito.
Oluvannyuma lw‘ennaku kkumi na nnya, ebisaanyi bigwa wansi ne bisima mu ttaka okukka ssentimmita nga bbiri ku ssatu okufuuka nnamatimbo.
Nga wayise ennaku munaana ku mwenda, ebiwojjolo ebikulu bivaayo mu ttaka ne bitandika buto omwetooloolo gw‘enzaala n‘enkula.