Ebisigalira okuva mu nimiro oba ebisigalira okuva mu makolero agakola eby‘eyambisibwa mukulima bisobola okukyuusibwa nebifuuka nakavundira mu butono, mukigero era ne mubungi ddala. Nakavundira wamugaso mukulima.
Nakavundira awa ebirime ekiriisa ate era n‘agata nekubungi bw‘ekigimusa mu ttaka eky;ogera ku nkuuma y‘amazzi mu ttaka olwo nekiwonya omulimi okusaasanya sente mukugula ekiveera eky‘okukozesa mukubikka.
Okukola nakavundira
Okukola nakavundira, w‘etaagisa ebikozesebwa omuli ebisigalira okuva mu makolero agakola ebikozesebwa mu kulima, obukuta bw‘emiti, kalimbwe, nekikozesebwa mukumenyaamenya ebisigalira bino naye bwoba tobiyina temaatema ebisigaliraabyo mubutundu tundu obutono.
Tuuma ebisigaliraabyo nga otandika n‘ebikalu wansi era n‘ebibisi kungulu. Kitwaala ebanga lwa my‘ezi ebiri kw‘esatu okubeera nga nakavundira awedde naye mumy‘ezi esatu, kyuusakyusa ebitabuddwa bulijo nga weyambisa ekitiiyo oba ekyuuma ekikyuusa okusinziira ku bunji.
Nakavundira bwaba nga attuuse okukozesa, muteeke ku ttaka okuliraana ekimera oba kikozese nga amajani ga nakavundira nga oteeka nakavundira mubukutiya era obusuule mu mazzi okumala ebanga lya naku musanvu ku kumi. Ekiriisa ky‘esengejja mpola mpola nga kiyingira amazzi, era amazzi negakozesebwa okuyiibwa ku birime. Amajaani ga nakavundira gayamba ekirime okugumira eddwade n‘ekyeeya.